Ebyemizannyo

Aba chess basiibuddwa okwolekera Zimbabwe mu mpaka za Africa ez'abamusaayimuto

Aba chess basiibuddwa, boolekedde Zimbabwe okwetaba mu mpaka za Africa ez'abamusaayimuto. 

Bamusaayimuto nga babasiibula
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Aba chess basiibuddwa, boolekedde Zimbabwe okwetaba mu mpaka za Africa ezabamusaayimuto. 
Akakiiko akalondoola enzirukanya y'emizannyo mu ggwanga aka NCS kasiibudde ekibinja kyabamusaayimuto abomuzannyo gwa chess okwolekera Zimbabwe gyebagnda okukiikirira eggwanga mu mpaka za Africa youth chess championships.
Ekibinja kyabantu 34 kyekisiibuddwa ku wofiisi za NCS e Lugogo nga kuliko abazanyi 18 nabakungu 16 okuli abazadde, abatendesi nabakungu okuva mu kibiina ekiddukanya omuzannyo gwa chess mu ggwanga ekya UCF. 
Abazanyi abagenda kuliko Daniel Odokonyero, Apollo Muhumuza, Edwin Pido, Elvis Tumusiime ne  Ronald Wabwire. Abalala kuliko Shoubhith Omprakash Kayyar,  Ssengero Ernest Kiggundu, Sean Mulema Wavamunno, Sankara Oyang ne Aaron Kagoda Mwesigwa.

Abazannyi nga babasiibula

Abazannyi nga babasiibula


Abawala kuliko  Sana Kayyar Ompprakash, Suhana Anil Yadav, Dasha Zalwango, Samora Atubo, Anabel Mawerere Kirabo, Juliet Asaba ne Psalm Nicole Tamale.
Musaayimuto Talia Gladys Atubet eyawangulira Uganda omudaali ogwekikomo mu mpaka ezaasembayo e South Africa naye azzeeyo nga waakuvuganya mu mutendera gwabali wansi wemyaka 10.
Bamusaayi muto bano bagenda kuvuganya mu mitendera egyenjawulo omuli ogwabali wansi wemyaka 18, 16, 14, 12, 10 nabali wansi wemyaka 8.  
Patrick Mukasa yagenze nga omutendesi wa tiimu nga waakuyambibwako mathias ssonko. 
Eng. Patrick Ojok agenda okukulemberamu ekibinja kya Uganda agumizza aba NCS okudda nobuwanguzi olwa tiimu eyamaanyi gyebatutte.
Milton chebet akiikiridde ssaabawandiisi wa NCS asibiridde bamusayimuto entanda nabakuutira okufaayo okukola obulungi basanyuse bakadde baabwe ababataddemu ssente.
Empaka zitandika ku ssande eno mu kibuga Harare ekya Zimbabwe nga amawanga 17 geegamaze okukakasa okwetaba mu mpaka zomwaka guno ezomulundi ogwe 16