TTIIMU ya Victoria University eya Rugby, esuuzizza Uganda Martyrs University Nkozi ekikopo n’omudaali gwa zzaabu mu mizannyo gya AUUS egiyindira ku Uganda Christian University e Mukono.
Wabula omwaka guno bazze bamazeeko okukomya ejjoogo lya Nkozi era ne bakikola. Okwangula baafunye wiini 4 nga bakuba Makerere (22-0), Kyambogo (28-0), Kampala International University (47-5) ne UCU omutegesi (33-7).
Baakubiddwaamu ensiike emu yokka nga Nkozi ebawangula (14-12). Nkozi emalidde mu kyakubiri n’ewangula ffeeza oluvannyuma lw’okufuna wiini ssatu, amaliri ga mulundi gumu ne bakubwa omulundi gumu.
Emizannyo gino gikomekkerezebwa ku Lwakubiri nga yunivaasite 22 ze zeetabyemu nga zivuganyizza mu mizannyo 19.