FOOTBALL Classroom FC, eyatandikira ku mukutu gwa WhatsApp ogw’abantu ab’enjawulo abagoberera omupiira, eraze nti mu Uganda mulimu ebitone.
Ttiimu eno eterina liigi mw’ezannyira, y’emu ku ttiimu 64 ezirinze akalulu k’empaka za Stanbic Uganda Cup ku mutendera gwe gumu ne ttiimu kirimaanyi mu mupiira gwa Uganda okuli, KCCA, Villa, Vipers n’endala. Okutuuka ku mutendera, Football Classroom yawandudde ttiimu z’omu Kampala 5.

Dan 'Mzee' Sserunkuuma owa Football Classroom FC ng'akuba peneti ate mu kirala ye Simeon Ssevvume ng'atagaza aba Lukuli Hearts. Football Classroom yawangula (2-1) mu Stanbic Uganda Cup e Nakivubo.

Becky Nakimera akulira emirimu mu Football Classroom
Ssekabuuza ye yawangulidde esaza lya Buweekula ekikopo ky’Amasaza sso nga yasooka kuwangulira St Julian ekikopo ky’amasomero ekya USSSA ekyali e Masaka.

Ssekabuuza (ku kkono) ne Man Jo.
Abalala abaliemabega wa ttiimu eno kuliko, Anthony Tumwesigye eyeeyita ‘hedimansita’ waayo. Omukutu gwabwe kwe bayita okusonda ssente za ttiimu. ‘Gungu Boy’ Moses Arinaitwe y’omu ku banene baayo.
TTIIMU Y’ABAWAGIZI Nga ttiimu eno erinayo omupiira, abantu bangi, omuli abaaguzannyako, abaamawulire, n’abakulira kiraamu endala mu liigi ez’enjawulo babeerayo okunyumira omupiira