ABAZANNYI ba Prostat Sports Academy abeegattira mu kkiraabu ya ‘Flamingo FC ne Juventus FC’ beetisse empaka za ‘Internal Club tournament’ bwe bawangudde ebikopo bya mitendera ebiri buli emu kw’ejo 4 egyavuganyiziddwaamu.

Ttiimu y'abato eyawangudde ekikopo
Bakira abazadde b’abazannyi bano, abasomesa n’abatendesi ng’entuuyo bazisaza bibatu olw’akasana akaabadde keememula nga bawagira abaana baawe mu mpaka zino.
Mu batasussa myaka 7, Flamingo yawangulidde ku penati (3-1) ng’ekuba Juventus ku fayinolo oluvannyuma lw’okulemagana (0-0) mu 90. Ate eky’abatasussa myaka 9 Flamingo yamezze Valencia (3-0) ku fayinolo.
Mu batasussa 10, Juventus yakubye Valencia (2-0) ku fayinolo, n’emegga Flamingo 2-1 ku fayinolo y’abatasussa 14.

Ttiimu ya Prostat
“Ng’oggyeeko, okwetegereza abazannyi, empaka zino tuzeeyambisizza okusunsula abamu ku bazannyi betugenda nabo mu mpaka za DANA Cup ezigenda okuyindira mu Denmark omwaka guno,” Mugerwa bwe yategeezezza.
Omwaka oguwedde Prostat Sports Academy bwe yeetaba mu za DANA Cup yamalirira mu kyakusatu, omulundi guno baagala kukiwangula. Bino we bijjidde nga baakakomawo okuva mu Ethiopia gye baawangulidde ekikopo kya Endale Cup bwe baakubye Eyobo Selan Sports Club (2-1) ku fayinolo.