Ebyemizannyo

Basitta ba She Cranes bafunye ekyeyo e Singapore

HANIISHA Muhameed Nakate ne Faridah Kadondi abazannyi ba She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka bawonye akatebe bwe bakutudde ddiiru ne beegatta ku liigi enkulu eya Singapore mu Asia. 

Basitta ba She Cranes bafunye ekyeyo e Singapore
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

HANIISHA Muhameed Nakate ne Faridah Kadondi abazannyi ba She Cranes ttiimu y’eggwanga ey’okubaka bawonye akatebe bwe bakutudde ddiiru ne beegatta ku liigi enkulu eya Singapore mu Asia.

Bano okutandika ne February 14, Deloitte Netball Super League eya Singapore lw’eggyibwako akawuuwo, bajja kuba baddamu okuzannya pulo oluvannyuma lw’ebbanga nga tebalina ttiimu yonna.

Kadondi 28, waakuzannyira Llabten netball club ate Nakate 25, yeegasse ku Mannas netball club wakati nga sizoni empya eya liigi ya Singapore esigazza ennaku 10 zokka.

Kadondi yasemba kuzannyira Nottingham Forest Netball club mu liigi y’oku ntikko mu Bungereza eya Netball Super League wabula endagaano ye yasazibwamu mu July w’omwaka oguwedde.

Mu ngeri y’emu ne Nakate abadde yasemba kuzannyira Surrey Storm eya Bungereza mu 2024 wabula ttiimu eno yasaanawo oluvannyuma lw’ennongoosereza ezaakolebwa mu liigi ya Vitality Netball Super League.

Liigi ya Singapore, Deloitte Netball Super League yeetabwamu ttiimu 6 zokka okuli; Blaze netball club, Swifts netball club, Sneakers netball club ne Orcas netball club okwegatta ku Llabten ne Mannas.

Tags:
Kuzannya
kapiira
Ddiiru
Kubaka