Ebyemizannyo

Uganda ewangudde emidaali etaano mu mpaka z'abaliko obulemu e Dubai

Abaddusi bemisinde gy'abaliko obulemu Ilalo Monica, Daniel Opio, Anna Anzoa ne Prisca Aciro bawangulidde uganda emidaali etaano mu mpaka z'abaliko obulemu eza Dubai World Para Athletics Grand Prix ezaakomekkerezeddwa mu kibuga Dubai ekya United Arab Emirates.

Prisca Aciro ng'attunka mu mpaka eza mmita 400
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Abawanguzi
T13 1500m (Bakyala)
1.       Nancy Koech Chelang (KEN) 4:45:10
2.       Ilalo Monica (UGA) 5:50:03
3.       Tabres Khan (IND)
T11/12 1500m (Basajja)
1.       Kimani Samuel mushai (KEN) 4.21.32
2.       Daniel opio (UGA) 4.43.34
1.       Alazemi Mohamed (KUW)
Abaddusi bemisinde gy'abaliko obulemu Ilalo Monica, Daniel Opio, Anna Anzoa ne Prisca Aciro bawangulidde uganda emidaali etaano mu mpaka z'abaliko obulemu eza Dubai World Para Athletics Grand Prix ezaakomekkerezeddwa mu kibuga Dubai ekya United Arab Emirates.
Ilalo Monica yeyasoose okuwangulira uganda omudaali gwa silver mu misinde gyabakyala egya mmita 1500 amangu ddala nga kyajje akakasibwe mu mutendera ogwa T13. Ono yali yawummula emisinde emyaka 6 egiyise wabula yakomyewo n'amaanyi era okukakkana nga amalidde emabega wa munnakenya Nancy Koech Chelang eyawangudde omudaalu gwa zaabu.

Abamu ku bannayuganda abawangudde emidaali nga bali n'omutendesi waabwe Vincent Mutagubya

Abamu ku bannayuganda abawangudde emidaali nga bali n'omutendesi waabwe Vincent Mutagubya

Daniel Opio yagasseeko omudaali ogw'okubiri mu mutendera gwa T11/12 mu basajja nga yaguwangulidde mu mbiro eza mmita 1500.
Omudaali gwa silver ogwokusatu gwawanguddwa kapiteeni wa tiimu ya Uganda Anna Anzoa Harriet nga guno gwabadde gwakukanyuga lunyago.

Anzoa yakanyuze mmita 30.77 namenyawo likodi gyabadde yeteerawo mu mutendera gwa F46 mu bakyala. 
Omuddusi Prisca Aciro ye yawangudde emidaali ebiri egyekikomo mu mbiro eza mmita 200 ne 400 uganda nevaayo nomugatte gwa midaali etaano.
Empaka zino era zaakozeseddwa okusengeka abaddusi ba uganda nokubafunira emitendera mwebalina okuvuganyiza mu mizannyo gyabaliko obulemu egyensi yonna.

Anna Anzoa nga akanyuga olunyago mu mpaka z'abaliko obulemu e Dubai

Anna Anzoa nga akanyuga olunyago mu mpaka z'abaliko obulemu e Dubai

Abaddusi okuli Jimmy Innocent (T11), Daniel Opio (T12) ne Ilalo Monica (T13)  beebasunsuddwa nokwekeneenyezebwa abasawo abakugu ku bulemu bwabwe.
Omutendesi wa Uganda Vincent Mutagubya yatenderezza abaddusi olwobumalirizu bwebaayolesezza mu mpaka zino yadde nga bangi ku bbo baabadde bazannya ku mutendera guno omulundi ogwasookedde ddala. 
Akulira ebyemirimu mu Uganda Paralympic Committee, Synole Patrick mumativvu nomutindo abavubuka gwebaataddewo kyeyagambye nti baatangaazizza ebiseera byabwe ebyomumaaso. 

Richard Ocira adukira mu kagaali nga attunka mu misinde gy'abaliko obulemu e Dubai

Richard Ocira adukira mu kagaali nga attunka mu misinde gy'abaliko obulemu e Dubai

Empaka zomwaka guno uganda ezikozesezza okwekeneenya abaddusi kiyite classification nokuwawula abamu ku baddusi abagenda okukiikirira uganda mu mizannyo gyabaliko obulemu egigenda okubeerayo omwaa guno egya commonwealth negya 2028 mu ggwanga lya amerika egya paralympics