TTIIMU y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi abatasussa myaka 20 (Queen Cranes), emezze Zambia (1-0) ne yeesogga omutendera ogusembayo mu z’okusunsulamu amawanga agalizannya ez’ensi yonna (FIFA U20 Women’s World Cup).
Ku Lwomukaaga Queen Cranes yawanduddemu bannyinimu (Zambia) mu maka gaayo ku kisaawe kya Levy Mwanawasa Stadium ku mugatte gwa ggoolo (2-1). Ensiike eyasooka FUFA Kadiba Stadium, ttiimu zombi zaagwa maliri (1-1).
Guno gwe mulundi omutendesi wa Uganda Sheryl Botes okukomyawo emitima gy’abawagizi ne bannayuganda. Ono bukya aweebwa mulimu mu 2023 ng’omutendesi wa ttiimu zonna ez’abakazi okuli Crested Cranes, ttiimu enkulu wamu n’ez’abato abatasussa myaka egy’enjawulo, talina n’emu gye yali ayisizzaawo kuzannya ‘World Cup’, wadde ez’Afrika (WAFCON) oba okuwangulayo ekikopo.
Eza FIFA U20 Women’s World Cup zaakuzannyibwa mu kibuga Warsaw, ekya Poland wakati wa September 5-27 omwaka guno.