EKIBIINA ekiddukanya omuzannyo gw’omupiira mu ggwanga ekya FUFA, kisse omukago ne Univasite ya ISBAT okukiyamba okuleeta tekinonologiya mu mupiira.
Enkolagana eno bagituseeko ku lw’okutaano lwa wiiki ewedde (February 20, 2026) ku kitebe kya ISBAT ekikulu ku Lugogo Bypass, abakungu ba FUFA nga bakulembeddwa omumyuka ow’okubiri owa pulezidenti wa FUFA Dr. Azar Taiba, gyebasisinkanye n’aba ISBAT ne bateeka emikono ku ndagaanao eno .

Abakungu ba University n'aba FUFA nga bassa omukono ku ndagaano
Dr. Taiba agambye nti, enkolagana eno bagitwala nga nkulu nnyo neyeebaza ISBAT univasite okukkiriza okubayambako okuzimba tekinologiya w’omupiira okuzimba eggwanga. Abadde awerekeddwaako abakungu ba FUFA abalala okuli; Shawn Mubiru akulira eby’amawulire mu FUFA, Edgar Watson akulira eby’emirimu mu FUFA, Ian Kiryowa akulira eby’ebirango mu FUFA . Yo ISBAT ebadde ekiikiriddwa Vice Chancellor Pulof. Mathew Kattampackal, akulira ebyenjigiriza Dr. Kumar Pradeep ne academic Registrar Dr. Paul Giju. Batadde emikono ku ndagaano ya M.O.U ya myaka 4, ng’esobola okuzzibwa obujja. Mu kiseera kino ISBAT yaakuyambako FUFA mu bya tekinologiya w’ekikugu naddala owa AI okukuuma obulungi likodi zeby’emizannyo naddala mu kitongole kya FUFA ekyeby’amawulire.

Abayizi ba ISBAT Univasite abeetaba mu mizannyo gya AUUS University games mu kifaananyi kyawamu nabakungu ba FUFA
Shawn Mubiru akulira eby’amawulire mu FUFA agambye nti, enkolagana eno egenda ku bayamba kuba bakizudde ng’omupiira gwetaaga okunoonyereza ne tekinologiya okukula, kwekwekwata abakugu ba univasite ya ISBAT okubayambako.
Agamba nti, ebyafaayo by’abazannyi b’ebweru bifunibwa mu bwangu lwa tekinologiya n’okunoonyereza, nti FUFA ebadde eteekamu ssente mpitirivu okupangisa abakugu b’ebweru okujja okutuyambako, kati kabafunye aba bakikole, nga kyakuteekawo emirimu mingi egyetoloolera ku mupiira, n’okuwa bannabyamizannyo obumanyirivu.
Edgar Watson CEO wa FUFA agambye nti, omutendesi ayinza okwetaaga okukyusa omuzannyi, tekinologiya ono ajja kumuyambako okumanya omuzannyi omutuufu asaanidde okudda mu kisaawe okusinziira ku mbeera eriwo, ate n’abanoonyereza n’abakungaanya beby’emizannyo bayambibwe, n’okuyamba mu kunoonya ebitone ebito.

Abakungu ba FUfa ne ISABAT Univasite oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano
Amyuka Cansala wa ISBAT univasite Pulof Mathew Kattampackal asanyukidde enkolagana n’ategeeza nti, omupiira ogw’omulembe kati gutambulira ku tekinologiya nti era baakuyambako FUFA mu byonna beyetaagisa tekinologiya w’omupiira.
Dr. Pradeep Kumar ne Dr. Paul Giju academic registrar bagambye nti , ISBAT egenda kutwala tekinologiya wa AI mu mupiira bateekewo data eyetaagisa akwata ku bazannyi, okuyamba ab’amawulire geby’emziannyo okukola okusunsula okutuufu okunoonyerezeddwaako, ekigenda okwongera okukuza omupiira mu ggwanga.
Oluvannyuma aba FUFA bakwasizza abayizi ba ISBAT abeetaba mu mpaka z’emizannyo gya univasite ez’omwaka oguwedde amabaluwa gaabwe.