Empaka z'emmotoka ez'empaka ez'omwetoloolo ogusooka ku kalenda y'eggwanga ey'omuzannyo gwa mmotoka eza MPU Mbale ezaguddewo omwaka ziwanguddwa Hassan Alwi n'addirirwa eyaliko kafulu w"omuzannyo guno Moses Lumala ate ye munnansi wa Ethiopian Stefano Valeri.

Hassan Alwi ne tiimu ye nga basanyukira obuwanguzi
Empaka ezakulungudde ennaku ebiri zaabadde mu bitundu bye Mbale wamu ne mu District ye Bukedea era nga Alwi yaziwangudde oluvannyuma lw'essaawa 1:12:52 n'addirirwa Moses Lumala nga ono yaddukidde 1:16:11 olwo Stefano Valeri naddukira 1:16:27 songa Oscar Ntambi eyakava mu z'ensi yonna mu ggwanga lya Kenya akutte ekifo kyakuna.

Moses Lumala ne Cedric Buzaabo omusomi we owa maapu.