Ebyemizannyo

Abagenda okwetaba mu mpaka za CAF ez'amasomero basiibuddwa okwolekera Zimbabwe

ABAKIISE ba Uganda mu mpaka z'amassomero ga Africa eza CAF Schools aba St. Mary’s Kitende baasiibuddwa olunaku olw'eggulo ne boolekera eggwanga lya Zimbabwe okwetaba mu mpaka zomwaka guno. 

Abazannyi nga nga basiibulwa
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

ABAKIISE ba Uganda mu mpaka z'amassomero ga Africa eza CAF Schools aba St. Mary’s Kitende baasiibuddwa olunaku olw'eggulo ne boolekera eggwanga lya Zimbabwe okwetaba mu mpaka zomwaka guno. 
Ekibinja ky'abantu 31 kyeyasiibuddwa okuli abazanyi 20, abatendesi bataano nabakungu okuva mu kitongole kya USSSA mukaaga. Ekibinja kino kyakulembeddwa  Twahir Kitezaala omukungu okuva mu kibiina ekitwala emizannyo gyamassomero ekya USSSA. 

Abazannyi nga basiibulwa

Abazannyi nga basiibulwa


Abazanyi abaasiibuddwa kwabaddeko Frank Musisi, Bashir Edema, Akram Ssenyonga, Nabiru Kajumba, Shakur Ngobi, Hamidu Kasumba, Nicholas Kawooya, Livingstone Kulata, Haruna Kisakye, Owen Mukisa, Elisa Mukasa, Ivin Kakinda, Musa Kironde, Henry Muhoozi, Lucky Wanyama, Imran Ssebbale, Shafik Kitimbo, Eze Kombi, Derrick Rwothomio ne Emmanuel Opio.
Abakungu abaatambudde ne tiimu kwabaddeko Ronald Mulajje (team manager), Hassan Zungu (mutendesi), Michael Kabali (mumyuka wa mutendesi), Joel Muwanguzi (wa byakwerinda) Dr. Aloysious Kyeyune (musawo) ne Mubarak Kiberu (mutendesi wabakwasi ba goolo).
Abalala abaagenze ye Rev. Canon Dr. Duncans Mugumya, Brighton Barugahare, Saidi Ddamulira ne Aisha Nakato eyagenze nga owaamawulire.
Omukolo gwokusiibula abazanyi gwakoleddwa kamisona webyemizannyo mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Rev. Canon Dr. Duncans Mugumya wamu nabakungu ba FUFA abaakulembeddwa akulira emirimu Edgar Watson wamu ne president wa USSSA Justus Mugisha. 
Mugumya yasibiridde abazanyi ba kitende entanda nabasaba okukomawo nobuwanguzi saako nokuwanika bendera yeggwanga mu ngeri egiweesa ekitiibwa.
Mugisha yatenderezza nanyini ssomero lya Kitende Lawrence Mulindwa olwokukulaakulanya omuzannyo gwomupiira mu ggwanga nga ayita mu kuzimba tiimu yomupiira eyessomero lya Kitende. Akulira emirimu mu FUFA edgar Watson yakuutidde bamusaayimuto okukozesa omukisa guno okwerangirira ku tiimu zeggwanga ezabato nga bayita mu kussaawo okuvuganya okwamaanyi.

Abazanyi nga beeteekateeka okugenda e Zimbabwe

Abazanyi nga beeteekateeka okugenda e Zimbabwe

Watson yayogedde ku mpaka Kitende zeegendamu nga ezituukagana nenteekateeka za FUFA ezokukulakulanya omuzannyo gwomupiira mu ggwanga mu nkola ya FUFA’s technical master plan.
Kitende okukiikirira Uganda yasooka kuwangula mpaka ezokusunsula eza CECAFA ezaategekebwa ku ssomero lyekitende mu December womwaka oguwedde. Kitende yaakuvuganya namassomero okuva mu mawanga agenjawulo okuli abategesi aba Zimbabwe, Tanzania, Senegal, Morocco, Zambia, DR Congo ne Benin.
Mungeri yeemu musaayimuto Isaac Ssentongo yeyalondeddwa nga om uku ba diifiri abagenda okulamula empaka zomwaka guno okuva mu Uganda. Ssentongo yalondeddwa wansi wenteekateeka yaba diifiri abato eyitibwa CAF Young Referees Programme.