Ebyemizannyo

Gomba ekomezzaawo omutendesi Ssekabuuza omulundi ogw'okuna

TTIIMU y’Essaza lya Gomba yayanjudde mu butongole omutendesi Felix Ssekabuuza n’akakiiko k’abantu abalala 8 b’agenda okukola nabo okulwana okuwangulira batabani ba Kitunzi ekikopo eky’omukaaga mu byafaayo.

Gomba ekomezzaawo omutendesi Ssekabuuza omulundi ogw'okuna
By: Gerald Kikulwe, Journalists @New Vision

TTIIMU y’Essaza lya Gomba yayanjudde mu butongole omutendesi Felix Ssekabuuza n’akakiiko k’abantu abalala 8 b’agenda okukola nabo okulwana okuwangulira batabani ba Kitunzi ekikopo eky’omukaaga mu byafaayo.

Guno mulundi gwakuna nga Ssekabuuza atendeka Gomba; yasooka 2014 nga omumyuka wa Shafik Bisaso era ne bawangula ekikopo, n’akomawo 2020 ng’omutendesi omujjuvu, ekikopo n’akitwala ate 2023 Bulemeezi yamukubidde ku fayinolo e Wankulukuku.

Omukolo gw’okumwanjula gwakoleddwa ku Lwokuna ku wooteeri ya Green View Garden and Restaurant esangibwa e Kanoni mu Gomba.

Waakumyukibwa; Davis Ssozi Nnono ne Alex Kizito, Lawrence Ndugga (wa dduyiro), Reagan Lule (wa baggoolokipa), Alex Ssebweye ne Joseph Nyanja (kulondoola mutindo gwa ttiimu), Dr. Oscar Mutebire (musawo) ne Julius Ddingilo (mijjoozi n’ebyokulya).

Tags:
Ebyemizannyo
Ttiimu
Felix Ssekabuuza
Byafaayo