Pulezidenti Yoweri Museveni y’asuubirwa okubeera omuddusi omukulu mu misinde gya Olympic Day Run nga June 20 egitegekeddwa mu disitulikiti ya Bushenyi.
Uganda Olympic Committee (UOC) yeegasse n’ekitongole ekyassibwawo Pulezidenti Museveni ekivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’ekirime ky’amatooke ekiyitibwa ‘Presidential Initiative on Banana Industrial Development (PIBID) ekituula mu Bushenyi nga kikulirwa Rev. Prof. Florence Muranga.
Emisinde gino gituumiddwa ‘Olympic Day Tooke Run’ ng’omulamwa omukulu gutuumiddwa ‘Move, Learn and Discover for Nutrition -Care’.
Ensimbi ezinaava mu misinde gino egisuubirwa okubeemu abaddusi abasoba mu 5000 aba UOC bategeezezza nti zaakuyamba okutegeka ttiimu y’abato egenda mu mizannyo gya Youth Olympics e Senegal mu September omwaka guno, okutumbula n’okusomesa endya ennungi okuva mu kirime ky’amatooke wamu n’okutumbula eby’ensubulagana n’amatooke.
Omumyuka wa pulezidenti wa UOC, Godwin Kayangwe asiimye enkolagana eyatuukibwako n’aba PIBID n’agamba nti mu misinde gino yaakwongera okunywera.
Ssabawandiisi wa UOC abali mu ngegeka zino, Beatrice Ayikoru ategeezezza nti emisinde gino gitegekeddwa mu kiromita 5, 10 ne 21 era nga giri mu kutindo gwa nsi yonna era ng’essaawa abaddusi ze banaddukira zijja kussibwa ku mitindo ogwo.
Ono era asiimye ekiteeso ky’omuddusi Moses Kipsiro eyawangula zaabu mu misinde gya Commonwealth Games enfunda ssatu eyagambye nti abaddusi ab’ava mu bitundu ebyo abanaawangula baweebwe ku ssente.
“Kino kijja kuzza amaanyi mu baddusi abakyali abato,” bwe yasabye.
Ye akulira ekitongole kya PIBID, Rev. Prof. Florence Muranga ategeezezza nti omukago gwe bataddewo ne UOC gujja kubamba abaddusi abato okutumbula ebitone nga bafuna ebirungo ebiva mu kirime ky’amatooke.
“Amatooke twagazuulamu ekyama nti ekiriisa ekirimu kiwangaala mu mubiri omuntu n’afuna amaanyi ate nga kirimu n’ebirungo ebireeta essanyu olwo omuzannyi n’azannya ng’ayagala ky’akola. Kiwangala mu mubiri okusinga ekiri mu kawunga k’akasooli,” bwe yategeezezza.
Yagambye nti baakumala wiiki nnamba nga bali mu masomero mu Bushenyi okuyigiriza bamusaayimuto ebirungi ebiri mu kirime ky’amatooke.
Emijoozi gy’okwetaba mu misinde gino giri ku sh35,000/= okusinziira ku Ayikoru.