Ebyemizannyo

Bategese oz'okujjukira Rajiv

ABAVUZI b’emmotoka z’empaka bategese ebikujjuko okujjukira eyali muvuzi munnaabwe, Rajiv Ruparelia awezezza omwaka ng’afiridde mu kabenje ku nkulungoy ‘oluguudo lw’e Busaabala.

Rajiv mu katono
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAVUZI b’emmotoka z’empaka bategese ebikujjuko okujjukira eyali muvuzi munnaabwe, Rajiv Ruparelia awezezza omwaka ng’afiridde mu kabenje ku nkulungo
y ‘oluguudo lw’e Busaabala.
Ebikujjuko bino bituumiddwa Rajiv Ruparelia Memorial Drive nga bitegekeddwa aba TT Drags and Drifts UG wansi w’ekibiina kya bavuzi b’emmotoka z’empaka ekya Federation of Motorsports Clubs of Uganda. Omukolo guliyo ku Ssande nga May 3, nga gusuubirwa okugatta abavuzi, ebibiina ebibatwala n’abawagizi. Mmotoka z’empaka ze zigenda okukulemberamu okuyisa ebivvulu nga baakusimbula ku kizimbe kya ‘RR Pearl Tower One’ ku Yusuf Lule Road bagende ku Speke Resort Munyonyo omugenzi Rajiv gye yali omu ku badayirekita ba wooteeri eno.
Nnaggagga Sudhir Ruparelia era nga ye taata wa Rajiv eyafiira ku myaka 35, yagambye nti abategesi baamusabye bakung’anire ku kizimbe ky’ebabbulamu Rajiv ekya RR Pearl Tower One n’akkiriza. Rajiv yalina abawagizi bangi mu ggwanga lyonna era ku lunaku luno baakwambala emijoozi egiriko ekifaanannyi kye okulaga obuwagizi bwabwe.
Ebikujjuko bino era bigendereddwaamu okukomyawo abawagizi ba Rajiv n’abaali mikwano gye, bavuzi banne okujjukira omuntu eyakola ennyo okukyusa obulamu bwabwe.
Abategesi bagamba nti abavuzi n’abawagizi ba Rajiv baakusooka kukungaanira ku RR Pearl Tower One bategeezebwe ebigenda mu maaso.
Mu October wa 2025, aba FMU bajjukira Rajiv bwe baategeka mmotoka z’empaka e Gulu ku mukolo Sudhir Ruparelia gwe yeetabako n’aba ffamire abalala ne nnyina Jyotsna Ruparelia. Empaka zino zaali ku kalenda ya NRC.
Gye buvuddeko aba Ruparelia Foundation baategeka olusiisira lw’ebyobulamu okujjukira Rajiv mwe bajjanjabira abalwadde b’amaaso mu bitundu by’emu Buvanjuba n’amambuka ga Uganda olwali ku Bukedea Training Institute erya sipiika wa Palamenti, Anita Among