Omuwala eyafiira mu mwala e Masajja, Sarah Muhindu yaziikiddwa e Mbarara.
Omuwala ono yali ne banne abalala babiri mu mmotoka ne yesolossa mu mwala Mayanja ogwawula Masajja ku Salaama awo ku Binzaali Kibira cell B e Masajja n'afiira mu mazzi
Banne baataasibwa, ye n'agwamu n'emmotoka era ng'omulambo baguzuula kumpi n'eddwaaliro ly'e Kiruddu mu wiiki ewedde.
Abadde alina adduuka lya Wine gw'abadde atundira ku Lwasa Stage e Salaama mu Kampala