Amus 1-0 Bukedea
Ekyokusatu
Kitende 3-0 Kyaddondo SS
Amus college ewangudde ekikopo kyamassomero ga siniya ekyomupiira ekisookedde ddala mu byafaayo oluvannyuma lwokukuba bajja baabwe aba Bukedea Comprehensive bwebavamu kitundu kyekimu ekya Bukedea goolo 1-0. Goolo ya Amus college yavudde ku kisobyo ekyakoleddwa okumpi ne ntabwe ya Bukedea era omuwuwutanyi Otim John Brian yasimudde omupiira negugenda butereevu mu katimba.
Aba Amus nga bawaga olw'okufuna obuwanguzi
Guno gubadde mulundi gwakubiri nga Amus college etuuka ku luzannya olwakamalirizo mu myaka esatu kyokka ekikopo kibadde kyabeesamba. Omutendesi wa Amus College Richard Malinga ayongedde okukola ebyafaayo nga awangudde ekikopo ekyokubiri mu myaka ebiri egyomuddiringanwa.
Omwaka oguwedde Malinga yawangula ekikopo kyekimu nga ali ne Buddo SS nga yakuba Kitende mu mpaka ezaali mu district ye Ngora.

Aba Amus nga bajaganya olw'okufuna obuwanguzi