Ebyemizannyo

Allan Okello ne musaayimuto beetisse engule za May

ALLAN Okello, agucangira mu Young Africans ey'e Tanzania ayongedde okusukkulumaku boomupiira mu Uganda, bw'abawanguddeko engule y'omwezi gwa May.

Abaawangudde engule za May okuva ku kkono; Christine Namulumba, Grace Nanfumba, Alvin Muhirwa ne Sultan Atubo eyakiikiridde Allan Okello, azannyira mu Young Africans eya Tanzania.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ALLAN Okello, agucangira mu Young Africans ey'e Tanzania ayongedde okusukkuluma
ku boomupiira mu Uganda, bw'abawanguddeko engule y'omwezi gwa May.
Ggoolo 9 ne asisiti emu bye yakoze mu mwezi oguwedde byamuliisizza 'Fortebet Real Star Award' n'agattirwako ne kavvu. Engule zino zitegekebwa Isaac Mukasa ne zivujjiririrwa kkampuni ya Fortebet ne Jude Color Solutions. Okello, eyagulwa doola 300,000 mu Vipers, alina ggoolo 11 ne asisiti 7 mu mipiira 19 egya Young Africans. Yakiikiriddwa kitunzi we,  Sultan Atubo okuva mu Next Pro Sports Management Agency.
"Okello ali ne Cranes e Morocco naye yantumye mmweebalize bazannyi banne, abatendesi, abawagizi n'abalala abamubeereddewo," Atubo bwe yategeezezza ng'akwasibwa engule ya Okello ku Nanjing Hotel e Kololo ku Lwokubiri. Enkya, Okello asuubirwa okuzannyira Cranes ng'ettunka ne Madagascar mu gw'omukwano e Morocco. Ku ngule, yamezze Charles Lwanga 'Neymar' owa SC Villa, ne Owen Mukisa owa Uganda Cubs eyayiseemu okwetaba mu World Cup y'abatasussa myaka 17 e Qatar.
 Abalala abaawangudde engule kuliko; ssita wa She Cranes, Christine Namulumba, eyakoze obutaweera nga Prisons efuuka kyampiyoni w'okubaka mu East Afrika. Omuddusi Peruth Chemutai yamezze abeemisinde olw’okuwangula emidaali 2 egya zaabu mu 'Xiamen Diamond League' ne 'Shanghai Diamond League' e China.
Ono yakiikiriddwa Grace Nambafu. Musaayimuto Alvin Muhirwa ye yasitukidde mu ngule
ya chess.
Fortebet yakiikiriddwa amyuka omwogezi waayo, Resty Mbatidde ate Erron Nandawula n'akiiikirira Jude Color Solutions.