Ebyemizannyo

Kyaddondo etongozza okuzimba ekisaawe

Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu agambye nti ekimu ku biremesezza Essaza lye (Kyaddondo) okuddamu okuwangula ekikopo ky'omupiira gw'Amasaza kya butaba na kisaawe kya bwannannyini.

Pulaani y'ekisaawe kya Kyaddondo nga bwe kirifaanana nga kiwedde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu agambye nti ekimu ku biremesezza Essaza lye (Kyaddondo) okuddamu okuwangula ekikopo ky'omupiira gw'Amasaza kya butaba na kisaawe kya bwannannyini.
"Ebisaawe ttiimu y'Essaza kw'esambira tubipangisa ssente nnyingi ekituleetera okukyusa buli mwaka. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima n'atuwa yiika
z'ettaka 10 ku mbuga ya Ggombolola y'e Ggombe we tugenda okuzimba ekisaawe gafuuke amaka gaffe amatongole," Kaggo bwe yategeezezza. Yasabye buli Munnayuganda okubakwasizaako mu nteekateeka y'okufuna ssente ezizimba ekisaawe kye yalaze nga bwe kinaafanana. Agamu ku makubo agagenda okuvaamu ssente kuliko, emipiira egy'omukwano, emisinde mubunabyalo (marathon), ebivvulu n'emyoleso (carnival),  ebijjulo n'amalala.
Kyaddondo ne Buweekula be baggulawo empaka z'Amasaza eza sizoni eno nga June 13 ku kisaawe kya National Teachers College e Mubende. Kaggo yalonda Norman Ssemwanga Kaboggoza nga maneja wa ttiimu ate omutendesi ye Bright Nyanzi