Ebyemizannyo

Amasaza mukaaga gegayiseewo okwesogga oluzannya olw'akamalirizo mu mpaka z'amaato

Amasaza ga Buganda mukaaga geegayiseewo okwesogga omutendera gw'akamalirizo mu mpaka z'amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta eziyindidde ku mwalo e Nakiwogo.   

Amasaza ag'enjawulo nga bavuga amaato
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Amasaza ga Buganda mukaaga geegayiseewo okwesogga omutendera gw'akamalirizo mu mpaka z'amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta eziyindidde ku mwalo e Nakiwogo.

Amasaza okuli; Bugerere nga bano be ba kyampion b'empaka zino omwaka oguwedde, Mawogola, Kabula, Bulemeezi geegayiseewo okwesogga ez'akamalirizo.

Empaka z'oluzannya Luno oluddirira olw'akamalirizo zibadde ku mwalo gwa Beene e Nakiwogo nga minisita weby'emizannyo n'okwewummuzaamu e Mengo, Robert Sserwanga Ssalongo yaabadde  omugenzi omukulu era asimbudde abavuzi amaato negagolomola.

Okuvuganya mu mpaka z'amaato

Okuvuganya mu mpaka z'amaato

Minisita Serwanga asiimye ab'amasaza olw'obujjumbize neyeebaza okwetaba mu mpaka zino, neyeebaza omutaka Gabunga James Mubiri Zziikwa V, okubaawo ku mpaka zino kubanga yaakulembera empingu ya kabaka.

Nategeeza nti okuvuganya kuno kuggyayo ekinyusi Kya Beene okuyamba ku bantu be,  naddala ababeera okumpi n'ennyanja okuggyayo obusobozi bwabwe kubanga bangi babeerawo ku lw'amazzi n'amaato.

Nategeeza nti waaliwo ebintu bingi ebisobola okukolebwa n'emizannyo mingi  egisobola okuzannyibwa ku nyanja kungulu ne munda, nti byonna byakutuukibwako mpola, naye kati batandise na maato okwo kwebajja okugatta ate emizannyo emirala, nti ate okuvuga amaato Kya bulamu.

Ssentebe w'empaka zino, Eng. Ben Immanuel Misagga agambye nti abazannyi bavuganyizza mu kkiro mmita; emu n'ekitundu, kkiromita emu ne mmita 500, kwetabiddwaamu amasaza ga Beene gonna 18.

N'ategeeza nti ku gano amasaza, mukaaga geegayiseewo okutuuka ku mpaka z'akamalirizo ezinaabaawo nga August 22, 2026 e Bunjakkou ssaawa Kya Beene ey'e Mawokota, neyeebaza abantu b'e Ntebbe olw'obuwagizi obungi bwebalaze , naasaba okubaayo mu bungi ku mpaka z'akamalirizo e Bunjakko.

Okuvuganya mu mpaka z'amaato

Okuvuganya mu mpaka z'amaato

Omwami w'essaza lya Beene ery'e Bugerere, Mugerere Samuel Ssemugooma, agamba omuzannyo gw'amaato e Bugerere  gwebakyasimga okuwangula emirumdi emingi, era be ba kyampiyoni b'omwaka oguwedde 2025 ate ne ku mulundi guno beebakyaleebya, naakowoola banna Bugerere okubaayo mu bungi ku z'akamalirizo bongere okweddizza ekikopo, n'ategeeza nti ennyanja nkulu nyo mu bwa Kabaka bwa Buganda, kubanga n'okusinza okwedda kwabeeraanga nyo ku nyanja.

Empaka zeetabiddwaako abakungu ab'enjawulo okuva e Mengo ne mu gavumenti yaawakati okubadde; omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa V, akulira empingu ya Kabaka, Dr Grace Steven  Sseruyange omumyuka wa Ssebwana asooka n'abakulembeze ab'enjawulo.

Amasaza asatu agasinze ku luzannya luno oluddirira okw'akamalirizo Buganda eyongedde okubayiwamu Kavu; Bugerere ekutte ekisooka bagyongedde akakadde ka ssente kamu,  Mawogola ebadde mu ky'okubiri 700,000/ ate Kabula ey'okusatu neweebwa 500,000/ mu buliwo.
Abawagizi baabaddeyo mu bungi okuwagira ttiimu zaabwe, nga kuluno n'abakazi bazeetabyemu wadde nga tebakoze bulungi.

Tags: