Ebyemizannyo

Ssebuguzi awera

KYAMPIYONI wa mmotoka z’empaka, Ronald Ssebuguzi akkirizza nti omwaka guno tebinna mutambulira bulungi nti kyokka tagenda kukkiriza bavuzi banne kumuliisa nfuufu mu z'e Garuga ku wiikendi.

Ssebuguzi (mu katono) mu z'e Garuga sizoni ewedde.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KYAMPIYONI wa mmotoka z’empaka, Ronald Ssebuguzi akkirizza nti omwaka guno tebinna mutambulira bulungi nti kyokka tagenda kukkiriza bavuzi banne kumuliisa nfuufu mu z'e Garuga ku wiikendi.

Yagambye nti engule ya NRC tannalaga bulungi mutindo gugyeddiza n'awera nti, "Ku ya sprint ηηenda kugifi irako." Eno ye y'akafubutuko.

Ku Ssande, abavuzi 65 baakusindana mu kulinnya omuliro mu mpaka za 'FMU Championship Sprint' e Garuga ku lw'e Ntebe nga balwanira obubonero ku ngule.

“Nnina okulaga bannange nti siggwangamu. N’omwaka guno nnina okunnyukayo n’engule. Ku bumanyirivu bwe nnina, sisuubira nti waliwo ampunyamu era e Garuga banneerinde,” Ssebuguzibwe yaweze.

FMU Championship Sprint, ze mpaka ezigenda okuggulawo kalenda y’ez'akafubutuko ey’omwaka guno. Abavuzi ba ddigi 40 nabo baakakasizza okuzeetabamu.

Tags: