OMUTENDESI wa Express omuggya, Morely Byekwaso n'omumyuka we, Edward Kaziba eggulo lwe baatandise emirimu gya ttiimu eno.
Baasikidde Jimmy Kintu ne Godfrey Magoba abaagenze mu URA ku nkomerero ya sizoni ewedde. Baabadde mu kisaawe e Nakivubo mu kutendekebwa kwa ttiimu okwasoose okwaleese abazannyi abasoba mu 70 okulwanira ennamba. Mu bazannyi bano kwabaddeko abaavudde mu ttiimu z'Amasaza, amasomero eza liigi ya babinywera n'eza liigi ya wansi.
Morley eyazannyirako ttiimu eno, okutendeka KCCA, SC Villa, Victoria University, UPDF ne ttiimu endala, abazannyi yabaawuddemu ebibinja bina (4) n'abawa dduyiro ow'enjawulo. Ebibinja ebibiri byabadde bitolontoka ng'abalala abayigiriza engeri y'okusuuza omulabe omupiira.
Kino baakikoze okutendekebwa kwonna era ekiseera kyatuuse Byekwaso n'awumuzzaako abamu ng'alaba batandise okusowoka ennimi. Oluvannyuma Byekwaso yagambye nti olutalo lw'aliko lwakulaba ng'afuna abazannyi abatuufu abanaakola omulimu omulungi kuba alina okuzza ttiimu ku ntikko.
Yategeezezza nti gano gakyali mabaga kuba abazannyi abamu tebaabaddewo ng'abasuubira nti baakweyongerako mu kutendekebwa okuddako kuba ttiimu bagyagala okugizannyira.
Express yasemba okuwangula liigi mu sizoni ya 2020/21 ate sizoni ewedde yamalidde mu kifo kya 10. Akulira emirimu mu ttiimu eno, Becky Cynthia Nakimera, yaweereddwa ofiisi ku kisaawe e Nakivubo. Yagumizza abawagizi ba ttiimu eno nti agenda kulwana okulaba ng'akola omulimu n'omutima gumu abawe essanyu.