Ebyemizannyo

Kyaggwe yeeweze okukuba Bulemeezi mu z'amasaza ga Buganda e Luweero!

Kyaggwe yakuba Bulemeezi 2 ku 0 bwe yagikyalira n'egamba baagibba ng’eyagala kwesasuza.

By: Kanyike Samuel, Journalist @New Vision

Abawagizi ba  Kyaggwe basannyalazza ekibuga Luweero nga batuukira mu luseregende lw'ebidduka okubbinkana n'essaza lya Bulemeezi mu mpaka z'amasaza ga Buganda ku kisaawe e Kasana mu Luweero.

Abawagizi ba Kyaggwe nga babunye ekibuga Kasana mu Luweero.

Abawagizi ba Kyaggwe nga babunye ekibuga Kasana mu Luweero.

Kyaggwe yakuba Bulemeezi 2 ku 0 bwe yagikyalira n'egamba baagibba ng’eyagala kwesasuza.

Bulemeezi erina obubonero busatu sso nga Kyaggwe erina 11 mu kibinja kya Masengere.

Wano baabadde batuuka mu kibuga Kasana ku mmotoka ekika kya loole gye bajjiddeko.

Tags:
Amawulire
Kyaggwe
Bulemeezi
Kubba