Ebyemizannyo

"NTAASA KU BBANKA ENTUNDAKO ESSOMERO" Andy Mwesigwa alaajanidde Pulezidenti Museveni

EYALI ssita wa SC Villa ne Cranes,Andy Mwesigwa alaajaniddePulezidenti Yoweri Museveni amutaase ku bbanka emaliridde okutwala essomero lye (AMESCO High School) eritudde ku yiika mukaaga, olw'ebbanja ly'egamba nti limulemye okusasula.

Essomero lya AMESCO High e Wakiso.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EYALI ssita wa SC Villa ne Cranes,Andy Mwesigwa alaajaniddePulezidenti Yoweri Museveni amutaase ku bbanka emaliridde okutwala essomero lye (AMESCO High School) eritudde ku yiika mukaaga, olw'ebbanja ly'egamba nti limulemye okusasula.

Andy Mwesigwa

Andy Mwesigwa


Mwesigwa, eyazannyirako IBV eya (Iceland) ne Chongqing Lifan (China) n'agunnyukira mu Saigon FC eya Vietnam, yatuuzizza olukuηηaana lw'abaamawulire ku Jevine Hotel e Wakiso ku Lwokusatu n'attottola ku bya looni n'essomero lye erisangibwa e Kikubampanga mu Wakiso; "Bwe nawummula omupiira, nasalawo okutandikawo essomero n'okutendeka abayizi n’abavubuka omupiira. Olw’embeera yakapito omutono, naddukira mu bbanka ya Equity n’empola ssente obukadde 380, ne ηηenda nga nsasulako okutuusa bbanka ya ABC bwe yantuukirira n’ensaba tukwatagane etandike okumpola looni.

Twakkaanya ne ku looni gye nalina mu Equity Bank, etandike okusasula bo ku magoba amatono. Twakkiriziganya ne ABC Bank n'ennyongerayo ne looni ya bukadde 100, kyokka nga nnaakagifuna mu 2019, ekirwadde kya COVID 19 kyabalukawo era Gavumenti n’eteekawo omuggalo, ekintu ekyankosa.

Nga nsinziira ku ddoboozi lya Pulezidenti bwe yalagira bbanka okukwatagana n’abantu abaali beewoze looni babongeremu ku budde bw’okusasuliramu looni, naddukira mu bbanka ya ABC ne mbasaba bannyongereyo obudde wabula bannyongeremu ku magoba, nsasule mpolampola.
Wadde nasigala nsasula mpolampola, kyanneewuunyisa bwe waayitawo ekiseera okukebera ebbanja lye nsigazzaayo nga lyekubisizzaamu nnyo!

Nga mmanjibwa akawumbi kamu n’obukadde 300! Naddukira mu kkooti kuba bye baali baηηamba nga tebikwatagana kyokka kkooti nayo n’etennyamba.
Bwe nasaba bbanka ebipapula ebiraga ssente z'emmanja, yagaana okubimpa nti nali sikkirizibwa kubirabako.
Mwesigwa bwe yayongeddeko. Wano we nsabira Pulezidenti Museveni okuvaayo ayingire mu nsonga zino.

Nakolera eggwanga n'okulitunda mu mawanga amalala nga nsamba omupiira, siyinza kukkiriza ntuuyo zange kufa ttogge bwe zityo.

Tags:
Andy Mwesigwa
AMESCO High School
ESSOMERO
Pulezidenti Museveni
ebbanja
SC Villa
ABC Bank
Bank