BASSITA ba ddigi 15 baggyiddwa ku ttiimu egenda okukiikira Uganda mu mpaka za Afrika (2026 FIM Africa Motocross of African Nations (MXoAN), ezitandika August 28-30 ku kisaawe kya Gallina Motocross Park mu kibuga Windhoek ekya Namibia, lwa kulemererwa kwewola obukadde 10 buli omu.
Abalala ye; Ashim Sserwadda (MX1), Geoffrey Kayiira, Shafiq Babeyo, Ali Kigozi ne Ashraf Mbabazi snr abavuganyizza mu mutendera gw’abakadde (Mx Vets).
Bano wadde ddigi bazivugira ne mu bire, era eggwanga lyabadde libabalirako okulwanira obubonero e Namibia, ebifo byabwe byajjuziddwamu ab’ekiboggwe kuba bazadde baabwe baabadde n’obukadde 10, wadde ng’abaabwe tebaabadde ku ttiimu.
Kino kyaddiridde ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga ekya ‘FMU’ okulemererwa okufuna ssente ezitwala ttiimu ya Uganda, kwe kusaba abazadde okwewola oba okwesasulira, olwo FMU eri baddizaawo ssinga Gavumenti eribawa ku z’omutemwa ekibiina gwe kirina okufuna.
“FMU etuliddemu olukwe, lwaki okugamba ffe twewole mu kifo ky’ekibiina okwewola ku lw’abavuzi. Tukimanyi nti Gavumenti ssente ezisinga yazitwala mu nteekateeka za kwetegekera AFCON, ffe abalina abavuzi abasukka mu omu, watya nga Gavumenti tewadde FMU ssente, olaba ba mmanelenda bwe batusiba,” omu ku bazadde bwe yayombye.
Okusinziira ku ssaabawandiisi wa FMU Reynolds Kibira, embalirira etwala ttiimu y’eggwanga ey’abavuzi abasukka mu 30 ya ssente nnyingi, twagabanye obuvunaanyizibwa, abazadde beewoze ne FMU okulaba nti Uganda ekiika mu mpaka.
Agamba nti eri abo abagamba nti Gavumenti ssinga eremererwa okutuddiza ssente zino, era tujja kusala amagezi okulaba ng’ebbanja lisasulibwa.
Abavuzi 34 be baakakasiddwa okugenda mu mpaka zino ezitandika nga August 28 – 30. Buli muvuzi yabadde esaasaanyizibwako obukadde nga 10.