ESSAZA lya Mawokota lirabye omutendesi wa ttiimu yaabwe Richard Malinga akyali mu mizannyo gy’amasomero egya FEASSA Games egy’omulundi ogw’okusatu, e Morogoro, Tanzania, ne bamukwata ku nkoona lwa mutindo gwa kiboggwe, n’okuwambagatanya emirimu emingi.

Malinga gwe baagobye
Omwami w’Essaza Hajji Hassan Kasujja Kagga (Kayima) yasinzidde mu lukiiko ku Mbuga y’Essaza e Butooro n’alangirira nga Malinga bw’agobeddwa.
Mawokota yaakakubwa emipiira 4 egy’omuddiring’anwa ate nga tateebye wadde ggoolo. Eno sizoni yaakubiri nga Malinga agobwa ku ssaza lino nga teyeesiikidde kanyeebwa.
Mu 2024 era yagobwa lwa mutindo, gwa kiboggwe. Essaza lyalangiridde Mustafa Kayinda n’omutendesi omuggya nga waakuyambibwako eyaliko omuzannyi wa Mawokota mu 2007 Huudu Mayanja.
Abatendesi abaggya basuubizza okuzza ttiimu engulu nga batandika n’omupiira gwa Ssande nga bakyazizza Bulemeezi etakyalina kigendererwa.
Ekibinja Mawokota mweri ekya Masengere kikulembeddwa Kyaggwe n’obubonero 16, Gomba (12), Ssese (11), Busiro (8), Mawokota (7) ne Bulemeezi (4).