OLUKIIKO olutegesi olw’empaka z’amaato ga Kabaka eza Buganda Royal Regatta 2026, ez’akamalirizo luzzeeyo ku mwalo e Bunjakko okutereeza enteekateeka z’akamalirizo ez’okubeerawo wiiki eno ku lw’omukaaga.
Balambudde ekifo kyonna okwetegereza obutebenkevu bwakyo, ssaako okwekeneenya embeera y'ekitundu yonna, n'amaato agagenda okukozesebwa agali mu kuwawulwa.

Yinginiya Misagga owookusatu ku kkono n'olukiiko lwe nga beetegereza amaato
Ssentebe w’olukiiko lw’empaka zino olutegesi yinginiya Ben Emmanuel Misagga ne ttiimu ye, ku lw’omukaaga bakedde kugenda ku bizinga by’e Bunjakko mu ssaza ly’e Mawokota awagenda okubeera empaka zino ez’akamalirizo ku lw’omukaaga lwa wiiki eno nga August 22, 2026, okulaba entegeka ezisemba bweziyimiridde.
Misagga agambye nti, buli kimu kiwedde okukolako, amaato agagenda okukozesebwa gayoyooteddwa, Afrigo Band yakubaawo okusanyusa abantu, n’ekifo kya Bunjakko Beach awagenda okubeera empaka nakyo bakirambudde nga kiri mu mbeera nnungi.

Bunjakko Beach awagend aokubeera empaka zamaato ga Kabaka ezakamalirizo ku lwomukaaga nga August 22
Agamba ku makya ago, wakusookawo okunoonya ebirabo ebigenda okukwekebwa mu musenyun omuli; pikipiki, amasimu ne ssente enkalu, nga buli omu wakuwangula ekyo ekinabeera ku kakonge kanazuula mu musenyu.
Akoowodde abantu ba Ssabasajja yonna gyebali okwettanira empaka zino babeereyo mu bungi ku lw’omukaaga okubugiriza Namunswa kuba naye asuubirwa okubaayo okuggalawo empaka z’omwaka guno, nga buli muntu wakusasula 10,000/ okuyingira.

Yinginiya Misagga nga akebera omusenyu awagenda okukwekebwa ebirabo
Batenga Nakisozi, omukugu ku lukiiko olutegesi agambye nti, wakubaawo n’empaka z’amaato g’ekizungu ez’okusanyusa abalabi eziyitibwa Rowing, n’empaka z’amaato g’abakyala, ssaako Afrigo band egenda okusanyusa abalabi, nga byonna abantu baakubirabira ku ssente 10,000/ zebagenda okusasula. Abawanguzi b’empaka z’amaato bakuwangula ebirabo omuli ssente enkalu n’ebirala.
Akulira ekifo kya Bunjakko Beach awagenda okubeera empaka zino Lwanga agambye nti, Mr Lwanga agambye nti amaato bamaze okugawawula bulungi, nga kati gali ku mutindo ogusobozesa abagenda okugakozesa okuwangula.
Abamu ku bantu abasangiddwa ku mwalo guno okubadde ba nnabuddu, bategeezezza nti, bbo baakedde okutuuka empaka zibasangeyo, nebakwoowola bannaabwe okuva mu masaza ag’enjawulo okubaawo mu bungi ku lw’omukaaga.

bano bagamba bavudde Buddu empaka zakubasanga Bunjakko
Amasaza 8 okuli; Bugerere, Mawogola, Kabula, Buvuma, Kooki, Busujju, Kyadondo ne Ssesse zeezaayitawo okuvuganya mu z’akamalirizo.