KYAGGWE ye ttiimu esookedde ddala okwesogga ‘quarter’ ku 18 ezeetabye mu mpaka z’amasaza ga Buganda sizoni eno ng’ebula emipiira 2 okufundikira egy’ebibinja.
Yeesozze ‘quarter’ ku bubonero 19 mu mipiira 8 gyokka egyakazannyibwa. Wabula waabaddewo amaziga, amagye bwe gaavudde mu mbeera ne gafukirira abawagizi ttiyagaasi okukakkanya akajjagalolo n’efujjo.
Nnamungi w’omuwagizi yeeyiye ku ssomero lya Trinity College e Nabbingo awali ekisaawe kya Busiro kyokka baakoze effujjo n’olukujjukujju okwagala okuyingira essomero ku kifuba n’ekigendererwa eky’okulaba omupiira nga tebasasudde.
Wakati mu kavuvung’ano, abamu ku bawagizi baazirise abalala nga bwe bavumirira ekikolwa kino nti kyabadde tekyetaagisa kukuba ttiyagaasi mu bantu abazze okuwagira ttiimu yaabwe n’okusanyukamu.
Abawagizi tebaakomye okwo, beeyiye ne mu kisaawe wakati oluvannyuma lw’omupiira okuggwa ne basannyalaza buli kimu ekyabadde kigenda mu maaso wamu n’okulemesa bannamawulire okukwata amawulire n’okwogerako n’abazannyi oba abakungu ba ttiimu ezaabadde zizannya.