Ebyemizannyo

Ntugasaze FC bagudde mu bintu

Ntugasaze FC eyakayingira mu liigi ya babinywera sizoni eno, egudde mu bintu, kkampuni ya Betika ebawadde kavbu wa bukadde 100. 

Abazannyi mu kiraabu Ntugasaze FC oluvannyuma lw'okuweebwa kavvu
By: Bya Hussein Bukenya, Journalist @New Vision

Ntugasaze FC eyakayingira mu liigi ya babinywera sizoni eno, egudde mu bintu, kkampuni ya Betika ebawadde kavbu wa bukadde 100. 

Ddiiru eno yalangiriddwa ku kisaawe kya Kira Road Police Grounds, ku Lwokusatu egenda kuyamba nnyo enjuyi zombi okutuukiriza ebiruubirirwa byayo.

Ntugasaze FC nga balaga Obukadde 100 obubaweereddwa

Ntugasaze FC nga balaga Obukadde 100 obubaweereddwa

Ntugasaze yatandikibwawo mu 2018, erwana omwaka gwayo ogusooka emalire mu bifo bye 10.
Kitunzi wa Betika mu Uganda, Desire Akanduhura yategeezezza nti omukago guno gwaleeteddwa olw’enkulaakulana ey’amaanyi eri mu Ntugasaze n’obukulembeze bwayo obulungi.

Akanduhura yagambye nti, “Ntugasaze kiraabu nto naye erina ebirungi bingi by’esobola okwongera ku bulamu bw’abantu era bagenda kulwana okulaba nga batambula nayo.

 Obuwagizi bwa Betika bugenda kukyusa obulamu bwa Ntugasaze kuba butuukidde mu kaseera akatuufu. Ebimu ku biri mu ndagaano eno, buli mupiira bagenda kulondamu omuzannyi asinze banne  (Player of the Match) aweebwe 150,000/-.

Abamu ku bazannyi mu Ntungasaze FC

Abamu ku bazannyi mu Ntungasaze FC


 Akulira omulimu mu Ntugasaze FC, Bob Brian Ogwang, yagambye nti bamalirivu okusigala mu liigi kuba bafunye ababayambako mu nsonga ezimu. Pulezidenti wa Ntugasaze Yossam Ntegerejje yasiimye enkoagana eno n’asaba abawagizi okubawagira ku buli mupiira kuba ttiimu ya bantu bonna.
Tags:
Ntugasaze FC
babinywera
Akanduhura

Emboozi Ezifanagana