Ebyemizannyo

Empaka z’amaato ga Kabaka enteekateeka zonna ziwedde za nkya

Empaka z’amaato ga Kabaka ez’akamalirizo zengedde, zakubaawo enkya  ku lw’omukaaga ku mwalo e Bunjakko mu ssaza lya Beene ery’e Mawokota.

Abaneetaba mu mpaka z'amaato nga begezaamu
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Empaka z’amaato ga Kabaka ez’akamalirizo zengedde, zakubaawo enkya  ku lw’omukaaga ku mwalo e Bunjakko mu ssaza lya Beene ery’e Mawokota.

Abagenda okwetaba mu Mpaka z'amato nga begezaamu

Abagenda okwetaba mu Mpaka z'amato nga begezaamu

Enteekateeka zonna okulaba ng’empaka zino zitambula bulungi ziggyiddwaako engalo,  Minisita wa Buganda ow’emizannyo n’okwewummuzaamu Owek. Ssalongo Robert Sserwanga, akyaddeko ku Bunjako Beach wezigenda okuyindira nakakasa nti ddala wali bulungi.

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alambuza Miniista webyemizannyo e Mengo Sserwanga awagenda okubeera empaka z'amaato

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alambuza Miniista webyemizannyo e Mengo Sserwanga awagenda okubeera empaka z'amaato

Abanene bangi abasuubirwa okwetaba mu mpaka zino okuli: Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja n’abakungu abalala basuubirwa okubaayo, nga ne Nnamunswa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II naye asuubirwa okubaayo.

Abe by'okwerinda nga bekenneeya ekifo kye Bunjakko Beach awategekeddwa emikolo

Abe by'okwerinda nga bekenneeya ekifo kye Bunjakko Beach awategekeddwa emikolo

Ab’amasaza  ga Buganda gonna 18 bamaze dda okutuuka e Bunjakko okwetegekera empaka, era olw’okutaano basiibye begezaamu olunaku lwonna.

Ekitongole kya Ssabasajja ekye by’okwerinda wamu ne DPC w’e Buwama nabo babaddewo okulaba ng'enteekateeka zonna zitambula bulungi eri abaneetaba ku mukolo awatali kutataganyizibwa. 

Ebirabo ebigenda okuwangulwa abantu mulimu pikipiki, amasimu, amasaawa, emijoozi gya Premier Leagues origino, nabyo byatuause dda mu kifo.

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alaga minisita we by'emizannyo e Mengo Ssalongo Sserwanga amaato agageda okukozesebwa mu mpaka

Yinginiya Ben Misagga ku ddyo ng'alaga minisita we by'emizannyo e Mengo Ssalongo Sserwanga amaato agageda okukozesebwa mu mpaka

Yiningiya Ben Misagga, ssentebe w’olukiiko olutegesi olw’empaka z’amaato olwa, Buganda Royal Regatta, agumizza abantu nti, eby’okusanyusa weebiri mu bujjuvu nga bikulembeddwaamu aba Afrigo band n’abayimbi abalala, nga bakutandika ku ssaawa emu ey’okumakya  okutuusa akawungeezi ng’empaka ziwedde.

Tags:
Empaka z’amaato
Ssalongo Robert Sserwanga
Ben Misagga
Buganda Royal Regatta

Emboozi Ezifanagana