Ebyemizannyo

Kitara eraze waaka muza Afrika

ESSANYU n’okusagambiza byabuutikidde ekisaawe kya Hoima nga bannyinimu abaKitara bawangula Mogadishu City (2-1).

Abazannyi ba Kitara nga bajaganya
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Mogadishu City 1-2 Kitara
ESSANYU n’okusagambiza byabuutikidde ekisaawe kya Hoima nga bannyinimu aba

Kitara bawangula Mogadishu City (2-1).
Omupiira gwabadde mu Hoima City Stadium nga gwabadde gwa luzannya lusooka mu CAF Confederations Cup. Mogadishu City eyakyazizza olw'obutaba na kisaawe kituuka ku mutindo gwa CAF e Somalia, ye yasoose okuteeba mu ddakiika y'e 16 wabula Kitara n'ebaddizza omuliro mu ya 33 n'eya 34. Badding’ana ku wiikendi mu kisaawe kye kimu

Tags: