MUSAAYIMUTO Ariella Annet Nabanjala eyawangudde zzaabu mu ddigi z’empaka eza Afrika (MXoAN) mu Windhoek ekya Namibia, bamwanirizza nga muzira, ebirabo ne ssente be babadde baanabaliwo okuva ku kisaawe e Ntebbe, okutuuka ku NCS e Lugogo n’eri kiraabu mw’avugira.

Ariella ne banne mu kudda ku kisaawe.
Yeegasse ku Hellena Birungi eyasooka okukikola sizoni ewedde mu mpaka ezaali mu kibuga Harare Zimbabwe. Ku mawanga 10 ageetabyemu, Uganda yamalidde mu kyakusatu bwe yakung’aanyizza obubonero 379 emabega wa Namibia omutegesi 431 mu kyokubiri ne South Africa eyaziwangudde ku bubonero 814.
“Nasooka kuwanduukululwa ku mutendera gw’awamu (50cc senior), nga bataddewo abansinga okudduka, ku ssaawa esembayo omutendera gw’abawala (50cc senior ladies) ne guweza abavuzi 6 abeetaagisa, kyokka nga taata wange George William Ssemakula talina ssente, laba Katonda w’ayamba FMU ne yeewolera abamu ku bavuzi, olwo nange nali kwabo,” Nabanjala bwe yannyonnyodde ng’eno bw’akaaba olw’essanyu.

Ariella (gwe bakwasizza ebimuli) eyawangudde. Wano ng'ali ne banne bwe baabadde e Namibia.
Tutuuka e Namibia n’enfuna entiisa kuba nnali sivugirangako ku kisaawe kya musenyu, ate abavuzi okuva e South Africa ne Kenya nga balina ddigi ez’amaanyi.
Era entiisa yanviiriddeko okugwa enfunda ssatu nga bwe nsituka ne ngoba, oluvannyuma nakizudde nti mbasobola era ne nnyongera amaanyi ne mbawangula emirundi gyonna.
Guno gwabadde mulundi gwange gusooka okuvuga empaka zino ebweru wa Uganda, era nakaaba nnyo nga tebantadde ku ttiimu okusooka ate nga ne ssente tewali.

Abamu ku bawagizi ba Ariella nga bamuleetedde ebirabo
Nabanjala, asoma P.3 ku St. Francis Junior School Buddo, y’akulembedde engule y’eggwanga eya ddigi mu mutendera gw’abakazi (50cc senior ladies) ku bubonero 277, esigadde empaka za mulundi gumu.
Bwe yavudde e Lugogo, ng’ali wamu n’abavuzi abalala 8 bwe beegattira mu kiraabu ya Southern motor Club (SMC), Omuyima wa kkiraabu eno Ponsiano Lwakataka naye n’abayiwamu eby’essava wamu n’ebbaasa za ssente buli omu okubayozaayoza olw’okukola obulungi.
Ng’oggyeeko Nabanjala, bannayuganda abalala abaakoze obulungi ye; Asaf Natan eyawangudde ffeeza mu mutendera gw’abakadde MX Masters, ne musaayimuto omulala Ronieta Sebuguzi yafunye omudaali gw’ekikomo mu MX 50 ladies.
Wabula kapiteeni Gift Ssebuguzi yafunye akabenje ddigi bwe yawanuse waggulu n’egwa bubi era n’amenyeka omukono gwa kkono.