Ebyemizannyo

Eza Moutain Dew UG3X3 zigguse

EMPAKA za basketball ow'abazannyi abasatu ku basatu (3X3) eza 'Mountain Dew UG3x3 2026' ziteereddwaamu ebirungo bya ssente ng'ekigendererwa kya kuzongeramu kuvuganya.

Kitunzi wa Mountain Dew, Grace Namutebi ng'alaga omujoozi gwa Mountain Dew
By: Ismail Mulangwa, Journalist @New Vision

EMPAKA za basketball ow'abazannyi abasatu ku basatu (3X3) eza 'Mountain Dew UG3x3 2026' ziteereddwaamu ebirungo bya ssente ng'ekigendererwa kya kuzongeramu kuvuganya.

Empaka zino ezaatandika mu 2024, ziyinda ku Ssande ya wiiki ejja (October 1) mu bitundu ebyenjawulo nga St Noa SS be bakyampiyoni baazo.

Kituunzi wa Mountain Dew, Grace Namutebi yagambye nti, "Ez'omwaka guno tuzisuubira okuba eza kaasammeeme kuba kyampiyoni waakukwasibwa obukadde 7." 

Yayongeddeko nti ekigendererwa kya kulaba nga bazuula ebitone bya bamusaayimuto ebipya naddala abo ababadde batafuna mukisa ku ttiimu zaabwe mu liigi y’eggwanga wamu n'abali mu bitundu ebyesudde Kampala. Yabyogeredde eggulo mu lukung’aana lw’abaamawulire ku Abja Park e Nnaalya.

Kitunzi wa Mountain Dew, Grace Namutebi ng'annyonnyola

Kitunzi wa Mountain Dew, Grace Namutebi ng'annyonnyola

Akulira ebyekikugu mu FUBA, Nichlos Natuhereza yakoowodde abazannyi ba basketball nti guno mukisa gw’abo abazannyi ababadde batuulidde ebitone nga babitulidde okuvaayo babyolese.

“Empaka zino muvuddemu abazannyi abali ku ttiimu y’eggwanga wamu n’abazannyira mu liigi y’eggwanga okugeza; Zoe Ateke, Bushra Namayanja, Edwine Ekau Joel Kayiira n’abalala.” Natuhereza bwe yategezezza.

Empaka zino zaakuzannyibwa abali wansi w’emyaka 25 ng’abazannyi babiri okuva mu liigi ya babinywera abali wansi w’emyaka egyo be bakkirizibwa mu ttiimu. Zakuggibwako akawuuwo nga 10 October omwezi guno.

Ebitundu gye zinaazannyirwa ye; Kampala, Mbarara, Mbale, Mukono, Gulu, Makerere ne KIU. Buli muwanguzi ku mutendera ogusooka waakusitukira mu 2,000,000/- sso nga bakyampiyoni baakuweebwa 7,000,000/-.

Tags: