Impis Rugby Club eyiise mu kavu wa bukadde 250 zigiddukanye emyaka ebiri.
Ssentebe wa kiraabu eno kati eyatuumiddwa Hima Impis Rugby Club, Sylvester Nyombi ategeezezza nga bakwasibwa ssente zino ku kisaawe kyabwe e Makerere nti omukago guno gugenda kubatumbula baddemu okuwangula liigi y’eggwanga gye baakoma okuwangula mu 1996.
Kalabalaba wa kiraabu eno, Dr. Phillip Katumba eyakwasiddwa ceeke yategeezezza nti Hima Impis y’emu ku kuraabu ezisinga obukaddemu ggwanga era y’emu ku nnya ezaakawangula ku liigi y’eggwanga.

Aba kiraabu ya Impis nga babakwasa kavu
Ye akulira oba kituunzi mu Hima Cement, Philemon Mubiru ategeezezza nti ensimbi obukadde 150 za kaasi ate endala zikole ebirala omuli okuddaabiriza bbugwe ne paviloyoni y’ekisaawe kya Makerere Grave Yard nga era bebaabizimba.
“Tuteeka ensimbi mu mizannyo mingi okuwa omukisa abavubuka kubanga bakola ebitundu 70 ku buli 100 mu ggwanga bali wa myaka 30 era nga basaana obubaako ebibatuuyanya n’obwongo bwongere okuwagalibwa n’okubera abalamu,” bwe yategeezezza.
Hima Impis yamalidde ku kya munaana mu liigi y’omwaka guno erimu ttiimu 12.