ABAKUBI beng’uumi n’ensambaggere 6 be basunsuddwa okukiikirira Uganda mu mpaka za Afrika eza GAMMA African Championship mu Ivory Coast wakati wa October 12 ne 16, 2026.
Ez’okusunsula zaabadde ku Kampala University e Ggaba nga zeetabiddwaamu abalwannyi okuva Pakistan, Afghanistan, South Sudan, Nigeria, Rwanda n’abategesi aba Uganda.
Bannayuganda baayolesezza omutindo omusuffu bwe baakubye amawanga gonna tonziriranga. Abazannyi ba Uganda kuliko; Nasser Abdul, Jonathan Nsubuga, Shafik Asuma, Paul Angara, Raymond Wanendeya ne Suzan Akello omukazi yekka.
Pulezidenti w’ekibiina ky’omuzannyo guno (Mixed Martial Art Federation in Uganda), Titus Tugume era eyali omukubi w’ebikonde n’ensambaggere, yasanyukidde omutindo n’asaba abalwannyi okwongera okwetegeka batuuke mu Ivory Coast nga bali bulungi. Abalwanyi bano bakiika mu mpaka zino mulundi gusooka.
Tugume yasabye Gavumenti okubakwasizaako kuba tebalina nsimbi zibatwala Ivory Coast.