Mu gw’okwegezaamu
Cranes 2-0 DR. Congo
Leero e South Afrika
Cranes - DR. Congo, 10:00
OMUTENDESI wa Cranes, Paul Put agambye nti buli muzannyi agenda kumuwa omukisa okwerwanako alage nti agwanidde okuzannyira ttiimu y’eggwanga.
Yannyonnyodde nti akaseera kano abazannyi b’awaka balina omukisa okwerwanako okumukakasa okubawa ennamba mu ttiimu kuba buli olukya okuvugannya kw’eyongera.
Kiddiridde abazannyi abagwira abalina akakwate ku Uganda, FUFA be yaleese okukola obulungi. Arnold Vula yateeba nga Cranes ekuba Libya (1-0) mu Hoima City Stadium mu gisunsula abalizannya AFCON ne Kevin Owusu Boateng okuteeba nga bawangula DR. Congo mu gw’okwegezaamu ku Lwokutaano e South Afrika.
Oluvannyuma lw’emipiira gyombi, Cranes ekomawo leero mu nsiike okudding’ana ne DR. Congo. Mu gwasoose, abazannyi b’awaka okwabadde, Herbert Achai, Geoffrey Lubangakene, Hilary Mukundane ne Jonathan Odongo be baatandise.