OMUBRAZIL Willian agambye nti sizoni emu gye yamala mu Arsenal, kye kiseera ekikyasinze okumukaaluubira bukya azannya mupiira gwa nsimbi.
Yansuubiza nti nze ηηenda okuba nnamuziga wa ttiimu era agenda kugizimbira ku nze kyokka yakola birala." Willian, eyasembye okuzannyira Gremio ku butaka mu Brazil, ayongerako nti, "Mu myezi 3 gyokka nali nkooye Arsenal ne ntegeeza kitunzi wange nti omusajja yantomeza.
Ensonga lwaki omupiira gwannema mu Arsenal kuba ebintu ssaabisanga nga bwe nasuubizibwa." "Bampa ssente ezeegasa naye najulirira Chelsea kuba yali empa essanyu. Mu sizoni emu naviira Arteta ne ηηenda ku looni mu Corinthians kuba ssente tezigula ssanyu," Willian, eyateebera Arsenal ggoolo emu mu mipiira 38 bw'agattako.
Ng'abuuziddwa ku ki ddala kye yasanga mu Arsenal, alambika nti, "Chelsea yali erwanirira bikopo naye nasanga mu Arsenal tebeewaayo nnyo. Ye nsonga lwaki twamalira mu kyamunaana mu Premier." Agamba nti, "Mu butendesi,
Arteta amanyi ky'akola naye mulimba, omutima gwe mubi tamanyi kuddukanya ttiimu."