🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Ebyemizannyo

Engule ecamudde Baliruno n'ayatula ekimuli ku mutima

“MUKASA ne bw'otolijja kunziika ekikyo okimaze. Otemye enkumbi esooka ku ntaana yange.” Munnamawulire omugundiivu, Yusuf Baliruno ‘Of Uganda’ bwe yatandise okwogera eggulo ng'akwasibwa engule ya 'Fortebet Life Time Achievers Award', eweebwa abo abakoleredde ennyo emizannyo

Baliruno n'engule ya Fortebet Real Stars.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

“MUKASA ne bw'otolijja kunziika ekikyo okimaze. Otemye enkumbi esooka ku ntaana yange.” Munnamawulire omugundiivu, Yusuf Baliruno ‘Of Uganda’ bwe yatandise okwogera eggulo ng'akwasibwa engule ya 'Fortebet Life Time Achievers Award', eweebwa abo abakoleredde ennyo emizannyo. Omukolo gwabadde ku Molecule Bar &
Restaurant e Kololo eggulo nga Baliruno yawangudde ngule ya mwezi guwedde (September).

Baliruno, eyayozezza ku mmunye olw'engule eno, yagambye nti abadde tasiimwangako mu myaka 30 gy'aweererezza emizannyo. Yabirombozze bwati; ABAANA bange bankoze bubi obutabeerawo wano kuba bulijjo bambuuza nti, "Naye gwe Taata aweerezza emizannyo bw'oti nga tetuwulirangako bwe akusiima?" Kinkoze bubi bali ku
ssomero. Nzaalibwa Nakatooke mu disitulikiti y'e Butambula nga nasinga kwatiikirira ku CBS FM wakati wa 2001 ne 2018 naddala mu kuwereeza emipiira gy’Amasaza, Cranes ne liigi ya Uganda.
Ekisinga okunnuma, gye myaka gye naweereza leediyo y’Obujjajja kyoka nga na kati
nkyanoonya bwenkanya mu kkooti, abaali bakama bange bansasule. Bannamawulire bannange bwe tusaka ag’emizannyo, mbakuutira mwagale nnyo omulimu gwammwe n’okuguwa obudde, muweereze abantu mu ngeri eya pulofeesono. Nazannya omupiira wakati wa 1988 ne 2000 ku St Bernard College Kiswera e Masaka, Buikwe Red Stars, Mityana-UTODA, Kampala UTODA, Nateete FC mu liigi ya babinweera ate mu 1994, eyaliko pulezidenti wa Villa, omugenzi Patrick Kawooya yantwala mu Villa International
nga yaakagitandikawo. Naliko ne ku ttiimu y’eggwanga eya U17.

Tags: