TTIIMU y'eggwanga ey'omupiira, Cranes ewezezza emyaka 100 kasookedde egunjibwawo.
Yatandikibwawo mu 1926 oluvannyuma lwa Kenya ne Uganda okuleeta ekiteeso ekigunjawo ekikopo ekiwakanirwa amawanga gombi. Cranes eyise mu biwonvu n'ebikko;
YASOOKERA KU MALIRI
Omupiira gwa Cranes ogwasooka gwaliwo nga April 1,1926. Yattunka ne Kenya ku kisaawe kya Railways ne balemagana (1-1). Ogw'okuddiηηana, enkuba eyali efudemba
mu Uganda yagulemes, Kenya n'eddamu okukyaza era yawangula (2-1) nga May 1,1926. Cranes eyasooka yalondebwa mu Buganda yokka, n'Omuzungu John Barlow, eyava ku Mengo High School.
Abazannyi abasinga baali mu Old Budonians (ey'abaasomerako ku King's College Budo), Makerere College, ne Mengo nga baasambira mu bigere, bye baasibangako 'bandeegi'. Oluvannyuma Cranes yayongerwamu ab'ebitundu ebirala; Mu bukiikakkono baggyayo Paul Owiti, Stephen Mirindua, Yekonia Odiya, George Situma, John Baptist B'tek, Manase Owiny, William Anyua ne E. Odur. Mu bugwanjuba, baaleeta John Bunyenyezi ne Baker Kasigwa.
CRANES EKIIKA MU AFCON Empaka za Afrika (AFCON), Cranes okukiikamu zaali mu Ethiopia mu 1962. Cranes yalimu Joseph Mabiriizi, Edward Semambo, Jimmy
Semugabi Bakyayita, David Otti, Kongo Odongo, Francis 'Jogoo' Atema, Ben Omoding, George 'Tampa' Kakaire, Rustiko Kasozi, Jimmy Sewava'Omulogo' n'abalala wansi wa Sam Yiga ne Re3v. Polycarp Kakooza.
Wadde Uganda yasemba mu kibinja, yawangulwa Misiri (2-1) era Bunyenyezi ye Munnayuganda eyasooka okuteeba mu AFCON. Wiini esooka, yakuba Congo Brazzaville (3-0) mu 1978.
EBIKUUNO KU CRANES
Mu 1983 mu CECAFA e Nairobi, ababbi baayingira mu wooteeri ya Cranes ne banyagulula buli kimu kyokka mpaawo yakwatibwa.
- Mu CECAFA ya 2000 e Kenya, Cranes yeenaanika omujoozi gwa Inter Milan eya Yitale, FIFA n'eweesa FUFA engassi ya doola 2,000. - Mu AFCON ya 2019 e Misiri, abazannyi ba Cranes beediima okuzannya Senegal ku luzannya lwa ttiimu 16 nga babanja ssente.
EBIRALA KU CRANES
Mu 1971, Andrew Wasaka Musoke ye yayiiya erinnya 'Cranes' ng'aliggya ku kinyonyi (ηηaali mu Lungereza ayitibwa Crane), ekiri ku bendera y'eggwanga.
Jolly 'Joe' Kiwanuka ye Munnayuganda eyasooka okutendeka Cranes (1961-1962). Polly Ouma y'akyasinze okulwa ku butendesi bwayo (emyaka 7, 1989-1995).
Ggoolo za Cranes ez'ebijjukizo kuliko; Jimmy Kirunda gye yateeba Ethiopia mu butikitiki obusembayo, eyagitwala mu AFCON ya 1978 e Ghana.
Ggoolo 13-1 Uganda ze yawuttula Kenya mu 'Gossage Cup' mu 1932.
Ennyanda Leo Adraa gye yasindirira ggoolokipa wa Zaire (kati DR Congo) ku Meefuga ga 1975.
Ennyanda Paul Hasule gye yasindirira ggoolokipa wa Iraq mu 'Peace & Friendship' Games' e Kuwait mu 1989.
Mu nsengeka ya FIFA, Uganda ya 87 mu mawanga agasinga okucanga akapiira