ERIK ten Hag, eyagobwa ku butendesi bwa ManU mu 2024, attudde akakuku ke ne Cristiano Ronaldo bw'agambye nti, "Nali mmuwa nnyo ekitiibwa nga kafulu mu mupiira naye wa nkwe, yangobya."
Yategeezezza olupapula lwa Athletic nti, "Nga nnaakafuna omulimu gwa ManU, nalinnya ennyonyi ne ng'enda e Portugal ne tuteesa bwe tuyinza okusitula ManU. Bwe yajja talina wadde ekimu kye yassa mu nkola. Yangiwayo ne ttiimu yonna."