Ebyemizannyo

CAF eyanjudde akabonera k'empaka za AFCON 2027 akatuumiddwa "AFCON Pamoja 2027"

EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu Afrika ekya CAF, wamu n'amawanga agagenda okutegeka empaka za AFCON 2027  okuli  Uganda, Kenya ne Tanzania  banjudde  akabonero akagenda okukozesebwa mu mpaka zino .

CAF eyanjudde akabonera k'empaka za AFCON 2027 akatuumiddwa "AFCON Pamoja 2027"
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu Afrika ekya CAF, wamu n'amawanga agagenda okutegeka empaka za AFCON 2027  okuli  Uganda, Kenya ne Tanzania  banjudde  akabonero akagenda okukozesebwa mu mpaka zino .

 

Akabonero kano akakoleddwa nga kaggyayo bulungi ekifaananyi kya Africa katuumiddwa "AFCON Pamoja 2027" .

 

Enkula y'akabonero kano esibuka ku ngabo ey'ekinnansi ey'omu Buvanjuba bwa Afrika, era eraga obumu, obukuumi n'obukulembeze obulungi.

 

 

Mu makkati g'akabonero kano, kuliko ekifaananyi ky'ekikopo kya AFCON n'ebirala bingi.

 

CAF era eyanjudde enkola z'engabo endala 12 ezikiikirira obukulembeze n'obulombolombo bw'amawanga gonna asatu nga eya Uganda eriko ennyonyi ya Nnamungoona (crested crane).

 

Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku by'obulambuzi ekya Uganda Tourism Board (UTB) Juliana kaggwa yalaze essanyu olwa nnyonyi namungona eyateredwa mukabonero. Kano nategeeza nti kagirayo ddala ekifaananyi ekituufu eky'eggwanga Uganda.

 

Yakkaatirizza nti guno omukisa munene ogw'okwongera okutunda Uganda mu nsi yonna era kino kyakusikiriza abalambuzi okujja kuno .

Tags:
AFCON Pamoja 2027
CAF

Emboozi Ezifanagana