TOP

Ssemwanga Kisolo yasimattuka amagombe emirundi ebiri

Added 23rd December 2014

EMU ku mboozi Muhamood Ssemwanga Kisolo ze yasinga okunyumisa mu mboozi ye ey’ebyafaayo ku leediyo yali ya bukulembeze bwa Idi Amin.

Bya VIVIEN NAKITENDE


EMU ku mboozi Muhamood Ssemwanga Kisolo ze yasinga okunyumisa mu mboozi ye ey’ebyafaayo ku leediyo yali ya bukulembeze bwa Idi Amin.

Omanyi Amin yali ayagalibwa Bannayuganda 90 ku buli 100 abatasomye, naye ng’abalala 90 ku buli 100 abasomye bamufujja lulusu!.

Naye nga Kisolo bw’anyumya engeri Amin gye yawambamu obuyinza nga January 25, 1971, n’akunyumiza engeri Abangereza gye baali bapanzeemu olukwe lw’okuwamba Obote, naye nga baali baagala kizibwe we ayitibwa Akena Adoko amuddire mu bigere, kyokka Isaac Maliyamungu n’awulira ku lukwe luno n’alaba n’engeri abajaasi b’omu nkambi ya Malire gye baali beejagamu era bwatyo n’ategeeza ku Idi Amin eyalinnya mu mupango guno ng’oyinza okulowooza nti Kisolo ye Maliyamungu, oba nti ddala olukwe yalulimu!

Kisolo abadde n’ekitone ky’okunyumya. Ng’akwata ekibooziboozi ky’omuntu yenna n’akissaako omutwe n’amagulu ng’akozesa obumanyi bwe obw’ebyafaayo n’olowooza nti ddala by’akunyumiza yabirimu!

Emboozi endala gy’abadde aluka n’osigala nga weenuguuna yaliwo nga September 9, 1977, Idi Amin lwe yalagira abantu 15 bakubwe amasasi mu Pan African Square e Katwe!

Kisolo yategeeza ng’ali ku leediyo: Ku olwo nga September 9, Idi Amin yayita abantu bonna babeewo nga bakuba amasasi abayeekera abaali baagala okuwamba gavumenti ye.

Yasooka n’akung’aanyiza emmundu ku Nile Mansions n’ayita ababaka b’amawanga ne bannaddiini ne bazitunulako. Olwo abakwate ne babakaka okusoma ekiwandiiko ekikakasa nti beenyigira mu lukwe lw’okuwamba Amin.

Ku ssaawa nga 5:00 ez’enkya, abajaasi baaleeta ebigoma ebijjudde omusenyu ne basibako abantu ab’okukuba amasasi.
Ku ssaawa nga 9:00 ez’olweggulo, ab’okutta baabaleeta mu kibangirizi ne babasiba ku bigoma, ku 10:00 Amin yayita ku ssaawa ya Kkwiini ng’avuga Wogani ng’atikkidde entalabuusi.

Olw’okuba gwali mwezi gwa kusiiba, abantu baali balowoozan nti Amin agenda kuyingira ekibangirizi asonyiwe abasibe naye yayitawo kkuutwe! Lt. Col. Butabika olwo n’awa ekiragiro ne babasasira amasasi!

Naye engeri Kisolo gye yanyumyamu emboozi eno, n’engeri gye yasiiga ekifaananyi ky’ekyobeera ekyabuutikira Kampala akawungeezi ako nga naawe toyinza butatya!
Olwo ye Kisolo n’akulaga nti abadde tawena, nti ogwo gwali mulundi gwe gwakubiri okulaba be bakuba amasasi ne babatta.

Omanyi nga ndi wa myaka 15 nga nsoma S3 mu Old Kampala SS, Amin nga January 23, 1973 yalangirira bw’agenda okukuba amasasi mu lujjudde, abayeekera be yali akutte bawe abalala ekyokulabirako. Nnava ku ssomero ne mbalaba nga babatta...!’ Abaddenga agamba nti olw’ebyo bye yalaba, alinga eyakyalako emagombe emirundi ebiri kyokka n’asimattuka!

Kale abatuuze b'omu Ndeeba ne Bannayuganda ababadde banyumirwa pulogulaamu y’ebyafaayo ebadde eweerezebwa Muhamood Ssemwanga Kisolo ku leediyo ya Super FM basigadde mu kiyongobero.

Ssemwanga aludde ng'atawaanyizibwa obulwadde bwa kookolo w'emimiro yafiiridde mu ddwaaliro lya Kampala Hospital ku Lwomukaaga n’aziikibwa ku Ssande nga 21/12/14 ku biggya bya bajjajjaabe e Makenke - Gayaza.

John Mukasa, omutuuze mu Ndeeba agamba nti Kisolo abadde muliranwa we mulungi, ng’akeera n’agenda ku leediyo n’avaayo ku ssaawa nga musanvu n’akwata ekicupa kya sooda ekinene n’atuula emabega w'amaka ge n’abeera okwo.
“Nga bw'omubuuza ky'akola emmanju akuddamu nti, ‘ndowooza ku byafaayo!’,” Mukasa bwe yagambye.

Kisolo ne mu Ndeeba babadde baamukazaako lya ‘byafaayo’ olw'engeri gy’abadde anyumyamu ebyaliwo mu ggwanga ne mu mawanga ag'enjawulo mu pulogulaamu ye ey’ebyafaayo gy’abadde aweerereza ku Super FM.

Naye nga ye Kisolo ebyafaayo abadde abimanyi. Nzijukira mu pulogulaamu Emboozi Teba Nkadde eya March 14, 2008, Kisolo yategeeza nti DP ye yasooka okutegeka obuyeekera obuggtyako Obote nga ne Museveni tannakirowoozaako.
Yategeeza: DP ye yasooka okutegeka olutalo lw’okuggyako gavumenti ya UPC .

Nga February 6, 1981 Museveni ne basajja be baba balumba enkambi e Kabamba, Andrew Kayiira owa UFM yali mu maka g’omugenzi Kalidinaali Emmanuel Nsubuga, era gye yasula nga bategeka lutalo okuggyako Obote.

Olwo bakamanda ba UFM nabo baali basisinkanye e Lubaga, mu maka ga John Dibya okutegeka olutalo.
Mu August wa 1980, Boniface Byanyima, Sam Kutesa n’omukunzi wa DP Specioza Naigaga (Kazibwe) baagenda e Bulaaya okutegeka olutalo oluggyako Obote wamu n’okukung’aanya ssente z’olutalo!

Nnyina w'omugenzi omuto, Florence Namutebi agamba nti Kisolo yazaalibwa abagenzi Hadijah Nakiboneka ne Diriisa Muwanga mu 1958 mu Ndeeba mu zooni ya Mpomba era naye w’abadde alina amaka ge.

Pulayimale yagisomera mu Lubiri p/s gye yava ne yeegatta ku Old Kampala ss gye yatuulira siniya eyoomukaaga nga wano emisomo wey agikomya.

Yaliko omusambi w'omupiira

Bwe yatuula S6, Kisolo yeegatta ku ttiimu y'omupiira eya kkampuni ya Lint Marketing Board, eyali esunsula ppamba era eyamuwa omulimu nga bw’agisambira omupiira. Eno yaliyo ebbanga eriwera, bwe yavaayo n’atandika emirimu gy'okukola ku leediyo era akoze ku ziwerako.

Atandika ku leediyo

Bwe yannyuka omupiira kwe kutandika okukola ku leediyo nga yaatandikira ku Radio Star nga nayo yakolangayo pulogulaamu y’ebyafaayo eyayitibwanga ‘Emboozi teba nkadde’, bwe yavaayo ne yeegatta ku leediyo ya Impact gye yava ne yeegatta ku Super FM gy’afiiridde.
Kisolo yalwana mu lutalo lwa Museveni era nga bw’atandika okukunyumiza bye yalaba mu nsiko toyagala amale.

Obulwadde
Namutebi agamba nti Kisolo aludde ng'atawaanyizibwa kookolo w'emimiro nti wabula mu August w’omwaka guno, kookolo yanyiinyittira ‘aatwalibwa mu ddwaaliro lya Kampala Hospital ng'eno teyavuddeyo okutuusa ku Lwomukaaga Mukama bwe yamujjuludde mu bulamu bw'ensi eno.

Kisolo talese mukyala naye alese abaana bana okuli omulenzi omu n'abawala basatu. Omu ku baana b'omugenzi, Swaiga Ssemwanga abadde yaakatuula S6, alaajanidde abazirakisa abasobola okumukwatirako okwongerayo emisomo gye mu maaso bamuyambe nti kubanga kitaawe y’abadde maama era taata nga kati ebibye biringa ebikomye.
 

Ssemwanga Kisolo yasimattuka amagombe emirundi ebiri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...