TOP

Lima obutunda kuba kati bufuna kiralu

Added 30th October 2011

W’OSOMERA bino ng’ensawo y’obutunda egula wakati wa 200,000/- ne 250,000/-. Kino kitegeeeza nti obutunda buli ku ttunzi, kyokka abalimi abamu batya okubulima olw’emirimu emingi egibuliko naddala nti bukaluubiriza okulandiza.

W’OSOMERA bino ng’ensawo y’obutunda egula wakati wa 200,000/- ne 250,000/-. Kino kitegeeeza nti obutunda buli ku ttunzi, kyokka abalimi abamu batya okubulima olw’emirimu emingi egibuliko naddala nti bukaluubiriza okulandiza.

Wadde nga guli gutyo ye Godfrey Kigoye owa Katende Harambe e Nsawo-Namugongo agamba abuyoolamu ssente ate bwangu okulima kasita obuyiga.

Okulima obutunda olina okusooka okuyiwa beedi, kino kikole ng’omaze okutegeka ennimiro mw’ogenda okubusimba. Funa ekifo ekirungi otereezeewo, mu kalimiro kano osobola okuteekamu ne nnakavundira okusobola okugimusa ettaka, kino bw’oba okimaze yiwa obusigo bwo kyokka bulina okuba nga bukalu bulungi, bw’oba obwanika tabikamu evvu.

Olumala okuyiwa bikkako ebisubi, oluvannyuma lwa wiiki emu bubikkule, kasita obutunda buweza amakoola mukaaga olwo tandika okubuteeka mu buveera. Ku myezi ebiri ojja kutandika okusimba mu nnimiro yo.

Okutegeka ennimiro
Kakasa nti ennimiro ntegeke bulungi. Simbamu enkondo n’okusima ebinnya. Obutafa ku kika ki ky’osimbye, bw’oba osima ekinnya ky’akatunda kiwe obugazi bwa ffuuti bbiri ku bbiri olyoke osimbe.

Ennimiro yo erina okubaamu ebikondo, singa oba ogenda kusimba butunda obwa kakobe omunene, bw’oba osimba ebikondo olina okuleka ffuuti 10 okuva ku kikondo ekimu okutuuka ku kirala. Kuno olina okusibako waya bbiri obutunda kwe bulandira.

Wuzi z’obutunda ezikka wansi ezo zireke, kuba ze zibala kyokka tozigaanya kukoona ku ttaka, gera nga zibulako ffuuti bbiri okutuuka ku ttaka oziraawe.

Wabula singa oba ogenda kusimba obutunda buno obuyitibwa Obuganda oba kakobe omutono, buzimbire ekidandali nga bw’olaba akatandaalo. Waggulu osobola okukozesa emmuli oba obuti obutonotono kwe bulandira.

Ekidandali kino kirina okuba nga kya ffuuti ttaano ng’osobola okuyimirira munda n’osalira obutunda kuba kasita busakaatira buba tebusobola kubala bulungi.

Bukula butya?    
Kasita bukwata obulungi oluvannyuma lw’emyezi esatu buba butandise okubala. Kasita bubala oyisaawo emyezi mukaaga n’otandika okunoga.

Obutunda obwa kakobe omutono singa oba obulabirira bulungi osobola okubunogerako omwaka mulamba ate kakobe omunene ng’omulabirira amala n’emyaka egisoba mu ena.

Bw’oba wasimba yiika emu, buli wiiki osobola okunogamu ensawo ssatu ku nnya ekitegeeza nti osobola okufuna akakadde buli wiiki mu butunda.

Kigoye agamba akatale kaabwo kagazi okugeza mu Owino n’e Nakasero kati babuyaayanira.

Okulabirira ennimiro
Kigoye agamba okufuna mu butunda olina okubukuuma nga temuli muddo, beera ng’obuliikiriza n’ebigimusa ebyaffe ebitakwetaagisa kukumalako ssente nnyingi ebya nnakavundira.

Toganya butunda kusaakaatira, kuuma ng’osalira buli lwe kyetaagisa, kino kiyamba obutunda obutasaakaatira ne bufuna ekitangaala.

Alina ekibuuzo kyonna ku butunda kiweereze ku 0782006608.

Lima obutunda kuba kati bufuna kiralu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...