TOP

Ebikulu mu lipoota ku Masiro g’e Kasubi

Added 3rd July 2011

Mu kiseera kye kimu, Mmengo ewandiikidde Gavumenti ng’egisaba efulumye lipoota eno mu butongole, abantu bamanye ebyazuuliddwa okusinga okutambulira ku ng’ambo.

Omuwandiisi w’akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku Masiro, Florence Ssewanyana yategeezezza nti bo omulimu ogwabwe baagumala,

Mu kiseera kye kimu, Mmengo ewandiikidde Gavumenti ng’egisaba efulumye lipoota eno mu butongole, abantu bamanye ebyazuuliddwa okusinga okutambulira ku ng’ambo.

Omuwandiisi w’akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku Masiro, Florence Ssewanyana yategeezezza nti bo omulimu ogwabwe baagumala, lipoota ne bagikwasa minisita ne ofiisi z’akiiko ne ziggalwa.

Ensonda zaatageezezza nti mu birala ebiri mu lipoota eno mwe muli eky’abajaasi b’ekibinja ekikuuma Pulezidenti nti be bamu ku beenyigira mu kukuba amasasi agatta abantu n’okulumya abalala bwe baali bagezaako okutereeza embeera ng’omukulembeze w’eggwanga anaatera okutuuka mu Masiro.

Mu kiseera kino lipoota eno ekyakuumibwa nga yaakyama. Kkopi yaayo kyategeezeddwa nti akakiiko olwamala okugibaga ku ntandikwa ya May 2011 ne kagikwasa abadde minisita Gabriel Opio naye eyagitwalidde Pulezidenti Yoweri Museveni .

Kyokka Mmengo ewandiikidde gavumenti ng’eyagala lipoota eno egifulumye mu butongole mu kifo ky’okugituulako.

Minisita wa Kabaka ow’ebyamawulire Charles Peter Mayiga yategeezezza Bukedde nti baawandiikidde minisitule y’ekikula ky’abantu nga baagala alipoota efulumizibwe kubanga abantu baagala okumanya ebyazuuliddwa.

“Tuwandiikidde minisita kyokka tetunaddibwamu,” Mayiga bwe yategeezezza.

Kino kiddiridde omulamuzi wa kkooti enkulu George Engwau okumaliriza lipoota eno mu February w’omwaka guno n’agikwasa minisitule y’ekikula ky’abantu eyassaawo okubuulirizza.

Amasiro g’e Kasubi gaakwata omuliro ne gasaanawo nga March16, omwaka oguwedde enkeera nga March17 abantu abasoba mu basatu baakubwa amasasi mu kwekalakaasa okwakulembera okukyala kwa Pulezidenti Museveni ne bafiirawo ate abalala abasoba mu musanvu ne bagendera ku bisago.

Ensonda zaategeezezza Bukedde nti lipoota ya Engwau yalaze nti okumala akaseera waaliwo olukwe lw’okwokya Amasiro .

Olukwe okutuukirizibwa kyamala kuzuulwa nti e Kasubi ku Masiro tewaali bukuumi bumala nga n’obulagajjavu bungi. Abaali mu lukwe baalina ensonga eziwerako omuli n’enkaayana ku Balangira n’Abambejja.

Lipoota era erumirizza nti abamu ku bakuumi ba Pulezidenti Museveni beenyigira mu kukuba amasasi agatta n’okulumya abantu mu Masiro nga March 17 n’ewabula gavumenti ekwate abaakola ekikolwa kino bavunaanibwe olw’obulamu bw’abantu obwasaanawo.

Eraga nti baakikola oluvannyuma lw’okulaba ng’abantu baali bagezaako okulemesa omukulembeze w’eggwanga eyali anaatera okutuuka e Kasubi kyokka n’erungamya nti ab’ebyokwerinda baali basobola bulungi okukkakkanya embeera nga tebasse bantu.

Ensonda era zaategeezezza nti alipoota yasembye gavumenti eyawakati eddemu okuvunaanyizibwa ku Masiro kyokka ng’ekwasiza wamu ne Mmengo.

Lipoota era erumiriza nti Mmengo yalagajjalira obuvunaanyizibwa bwayo bwe yalina okutuukiriza ku kifo kino okusooka, ng’okussaawo obukuumi obumala ng’okugonjoola enkaayana ezaali mu bantu baayo.

Ku kuzzaawo Amasiro, lipoota esaba Mmengo esooke ekwatagane ne gavumenti bagonjoole enkaayana zonna eziri ku ttaka ly’amasiro okuli n’okuggyako akanaala akaliko ekikontana n’enteekateeka ya UNESCO kubanga ekifo kya nnono obutonde bwakyo tebulina kutataaganyizibwa.

Omusajja eyeyanjula ku poliisi nti yeyayokya amasiro omutwe gwali si mulamu era ne yejjeereza abamu ku baali balumirizibwa nti baali mu lukwe olwakolebwa nga bali bweru wa ggwanga.

Amasiro gateekeddwa okukuumibwa poliisi n’okuzimbwako bbugwe. Waliwo n’ensonga endala nnyingi alipoota zeeyagala zikolebwe okumalawo okukakasa nti ekikangabwa kino tekiddamu kubeerawo.

Ebikulu mu lipoota ku Masiro g’e Kasubi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...