Ssaabasajja bw’aba ayingiza abantu be mu mwaka akozesa ekisumuluzo ekiwundiddwa mu kikomo. Kano ke kabonero akatutwala mu mwaka omuggya.
 Ekisumuluzo kiko-zesebwa okulaga nti waliwo olugendo olupya olubagiddwako.
Y’ensonga   lwaki Pulezidenti Yoweri Museveni abadde akwasibwa ekisumuluzo buli mulundi lw’abadde alayizibwa, ng’awangudde obululu mu l996, 2001 ne 2006.
 Ne bannaddiini bwe baba baggulawo amasinzizo batera okweyambisa akabonero k’ekisumuluzo.
Ekisumuluzo Sssa-basajja ky’akozesa tekirina ngeri yonna gye kyekuusa ku byabufuzi, ng’abamu bwe babadde batandise okubyogera.
 Ssaabasajja Kabaka ne gavumenti ye, ey’e Mmengo tebalina ludda mu byabufuzi.
 Buganda enyweredde ku biruubirirwa byayo ebyafunzibwa mu nsonga ssemasonga ettaano: Obwakabaka nekitikkiro kyabwo, nga ye Ssaabasajja Kabaka; okugabana obuyinza mu nkola eya federo; okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda; okulwanyisa obwavu ng’abantu bayambibwa mu ngeri ennung’amu ; n’okukuuma obumu bw’abantu ba Buganda.
Munnabyabufuzi awagira ebyo Mmengo emusanyukira awatali kusosola mu bibiina byabufuzi.
Charles Peter Mayiga ye Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku By’amawulire n’ensonga za Kabineti.
Mmengo etangaazizza ku Kabaka okukwata ekisumuluzo