TOP

Musolooza akkirizza okukuma ekyoto

Added 7th December 2010

Agambye nti Kabaka yalagira kimale ennaku mwenda nga kikumibwa Abalangira n’Abambejja abakulemberwamu David Wassajja  gattako Bannaalinya basobole okusabira Obuganda okuvvuunuka akaseera akazibu ke bulimu.

Kyali kyakamala ennaku ssatu Amasiro  ne  gakwata omuliro.

Fredrick Mbabaali Kiw

Agambye nti Kabaka yalagira kimale ennaku mwenda nga kikumibwa Abalangira n’Abambejja abakulemberwamu David Wassajja  gattako Bannaalinya basobole okusabira Obuganda okuvvuunuka akaseera akazibu ke bulimu.

Kyali kyakamala ennaku ssatu Amasiro  ne  gakwata omuliro.

Fredrick Mbabaali Kiwanuka (Musolooza) ye yategeezezza akakiiko kano akakulirwa omulamuzi George Engwau nti ekyoto ky’Abatabaazi ye yakikuma ku biragiro bya Kabaka Mutebi.

“Katikkiro Ying J.B Walusimbi yankubira essimu ng’ampita mu Masiro e Kasubi mu bwangu nsisinkane Nnaalinya Namikka. Nnamusangayo  ne Nnaalinya Namikka n’Omulangira Wasajja. Bantegeeza nti Beene yamulagidde nkume ekyoto ky’Abatabaazi okumala  ennaku mwenda”  Musolooza bwe yategeezezza.

“Olunaku olwasooka nga March 13, Namikka yatutegeeza nti Kabaka yali ayagala twegayirire mu ngeri bassekabaka abalala gye baakolangamu nga bakuma ebyoto by’Abatabaazi nti kubanga waaliwo ebizibu omwali okumugaana okulambula ensi ye ng’e Bugerere ne Buluuli n’ebirala,” Musolooza bwe yagasseeko.

Yagambye  nti  yagula  kkiro z’ennyama 10 ey’embuzi n’ey’ente n’eteekebwa ku kyoto. Esinga yayokebwa n’efuuka bisirinza entono ne bagiriira awo ku mwenge. Kyokka olunaku  Amasiro lwe gaayokebwa Namikka ne Wasajja tebaaliwo.

“Twali twokya nnyama omu ku bazaana n’ajja ng’adduka n’okukuba enduulu nti Amasiro bagateekedde omuliro olwo ne tudduka okugazikiza kyokka ng’omuliro gutusinza amaanyi. Twasobola kutaasaako bazaana ba Kabaka abasula mu Muzibwazaalampanga,” Musolooza bwe yagambye.

Abamu ku bajulizi abazze balabika mu kakiiko babadde batankana ekyoto ky’Abazira nga bagamba nti tebamanyi lwaki kyakumibwa.
Kyokka Musolooza yagambye nti ng’oggyeko ekyoto Ggombolola ky’akuma mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo n’ekya Buganda Mirembe ekibeera mu Masiro e Kasubi, n’ekyoto ky’Abatabaazi y’ateekeddwa okukikuma nti kyokka kino tekitera kukumibwa okuggyako nga waliwo obwetaavu. Mu myaka mukaaga gye yaakamala e Kasubi yakakikuma emirundi ebiri

Musolooza era yayogedde n’ebyaliwo nga poliisi yeezooba n’abantu be yali eziyiza okuyingira mu Masiro okutuusa Gen. Katumba Wamala lwe yajja n’engeri mmotoka za poliisi ezizikiriza omuliro gye yasooka okusaagira mu by’okugazikiza.

Ate omujulizi omulala Omumbejja Nnaalinnya Nakayaga Mirimo yategeezezza nti omuliro ogwayokya Amasiro agussa ku Katikkiro waago Ssaalongo Mulumba eyatwala ‘Emiwambo y’oku Masiro egyali gyateekebwako okugaganga abazigu.’

Yayogedde n’embiranye eyaliwo ng’abantu balwanagana n’abakuumi ba pulezidenti Museveni nga tebagaala asooke Kabaka kuyingira mu Masiro nti kubanga “teyalinayo kitaawe oba jjajaawe gwe baali baziiseemu ate ng’aba Kabaka bonna bagalamidde omwo era n’enkolagana ye ne Kabaka yali si nnungi”.
 

 


 

Musolooza akkirizza okukuma ekyoto

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...