TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Gavt. enoonya b’esibako byabwediimo - Ssemujju

Gavt. enoonya b’esibako byabwediimo - Ssemujju

Added 21st February 2010

GAVUMENTI by’evunaana Medard Lubega Sseggona: Okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa, okukyayisa Gavumenti n’enkola zaayo.

By’azzeemu: Abakulembera Gavumenti babeera bakulu ekimala ate nga bagunjufu. Nze bantutte mu kkooti emirundi ebiri nga nvunaanwa gwa kusiga bukya

GAVUMENTI by’evunaana Medard Lubega Sseggona: Okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa, okukyayisa Gavumenti n’enkola zaayo.

By’azzeemu: Abakulembera Gavumenti babeera bakulu ekimala ate nga bagunjufu. Nze bantutte mu kkooti emirundi ebiri nga nvunaanwa gwa kusiga bukyayi mu bantu.

Gavumenti eyogedde n’ekola ebintu bingi ebivaako abantu okwekyawa. Mu keediimo abantu abamu babaggyanga mu mayumba gaabwe ne babattika ku mmotoka ne babatwala n’okubakuba kibooko. Olwo omuntu lwaki taanyiige?  Gavumenti ekitutaddeko nti tukulembedde mu kusosola mu mawanga ate yo ye nnamba emu! Kino bakikola mu bigambo ne mu bikolwa. Bagamba tuli baana bato abatasaanye kwogera ku byabuwangwa, naye tulina  kuweza myaka emeka okubyogerako?

Gavumenti by’evunaana Ssemujju Nganda: Kusiga bukyayi mu bantu, okuvumirira enkola za Gavumenti n’okunyooma Pulezidenti.
By’azzeemu: Wiiki we waaliwo akeediimo ssaali mu ggwanga, nnali ng’enze South Afrika. Gavumentu esanze obuzibu bunene okunoonya ani gw’eba ejwetekako emisango gino nga temulaba! Y’ensonga lwaki kati etandise n’okuggyayo ebikadde ebitali bituufu!

Simanyi lwaki etwala abantu bbo ng’abatalina magezi, abalagirwa obulagirwa! Ekimanye nti ekoze, ekola ate ekyakola ensobi nnyingi ezivuddeko abantu okwekyawa.

Bwe kiba ng’ekyagaanya Katikkiro ne Kabaka okugenda e Bugerere lwakuba nga yali tesobola kubawa bukuumi olw’Abanyala abaali bataamye obugo, olwo eba Gavumenti ki eyo etasobola kukuuma bantu baayo?

Abapoliisi abayimiriza Katikkiro ku Ssezibwa lwaki tebaagenda naye ne bamukuuma? Abasirikale abaayimiriza akeediimo lwaki tebaagenda ne bakuuma Kabaka e Bugerere?

Gavumenti evunaana Betty Nambooze okukuma omuliro mu bantu, okuvumirira enkola za Gavumenti n’obuyeekera:

Bye yazzeemu: Gavumenti by’egamba nti nagamba abantu bazire amata n’amatooke g’abannyankole oyo ‘Wolokoso.’ Sibyogerangako, kyokka waliwo abaabyogera ng’omugenzi Nankunda Muwanga.

Nnina emisango mu kkooti naye sivunaanibwangako kukuma mu bantu muliro. Bwe kiba nga ffe tugamba Abagnda okulumba lwaki tebakikolanga? Pulogulaamu ku CBS baazikwatanga ku ntambi, n’olwekyo bazeetegereze balabe oba bye banvunaana mwebiri.

Ebya Moses Kasibante omukozi wa CBS: Gavumenti emuvunaana kusinziira ku Mama FM n’alumiriza nti Museveni yabba ettaka e Kisozi.
Bye yazzeemu: Ebyo sibyegaana, nnabyogera kubanga bwiino mmulina. Obujulizi buno si bwange wabula bwa nnannyini ttaka Museveni lye yazingira mu ffaamu ye bwe yali asiba sseng’enge!
Nali ng’enze Gomba, Mw. Herbert Ssemakula ne yeemulugunya olwa Museveni okwagala okubba ettaka lye yali akuuma ery’Aboolugave! Bino biri ku kyalo Kajjumiro e Kisozi.

 

 

 

Gavt. enoonya b’esibako byabwediimo - Ssemujju

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga awabudde A...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awabudde Abasumba b'Abalokole okukomya okwerumaaluma. Yabadde agenze...

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...