TOP

Abali ku ttaka lya Kabaka bafunye satifikeeti

Added 21st February 2010

Abatuuze abasoba mu 400 abaakung’aanidde ku kasaawe ka Masengere e Nansana ku Ssande baakwasiddwa satifikeeti zaabwe ezibakakasa ng’abasenze ku ttaka lya Kabaka. Omukolo gwakoleddwa abakungu mu kitongole ky’eby’ettaka e Mmengo ekya Buganda Land Board (BLB).

Abatuuze baasooka kusasul

Abatuuze abasoba mu 400 abaakung’aanidde ku kasaawe ka Masengere e Nansana ku Ssande baakwasiddwa satifikeeti zaabwe ezibakakasa ng’abasenze ku ttaka lya Kabaka. Omukolo gwakoleddwa abakungu mu kitongole ky’eby’ettaka e Mmengo ekya Buganda Land Board (BLB).

Abatuuze baasooka kusasula 200,000/ okuwandiisa ebibanja byabwe ne baweebwa obupande obwasimbibwa ku bibanja byabwe okuli amannya, nnamba zaabwe n’e zooni mwe bali nga kati baaweereddwa satifukeeti okulaga obwannannyini bwabwe n’obusenze ku ttaka lya Kabaka.

Mw. Ssonko bwe yabadde ayogera eri abatuuze yagambye nti kirungi buli muntu okuwandiisa ettaka lye ne liggulirwawo fayiro mu BLB n’okufuna satifikeeti nti kyokka era kiba kirungi singa ate ababa baagala okulikolerako emirimu gy’ebyenfuna balipimisa (okupunta ettaka) ne balifunira ebyapa.

“Kati mulina obuvunaanyizibwa ku ttaka lyammwe kyokka tewali akkirizibwa kutunda, kwazika kusima bya bugagga okuligabira omuntu omulala yenna nga tamaze kutegeeza ku BLB ate abaagala musobola n’okulipunta mu lifuule ery’omuwendo.

Ettaka lyammwe bwe munaalifunira ebyapa ate muggya kulifuula lya muwendo nyo, lifune poloti nnamba n’ebipimo byalyo ebituufu,  ayagala okutunda kimwanguyira kuba aba n’ebipimo, nga wano mu Town Council kyanguyira mangu ayagala okuzimba abakungu b’ekibuga okukakasa pulaani yo, n’abbaba baagala okukulaakulanya ekifo nga bagezaako okubasengula kibanguyira okubasasula kuba muba mweramula” bwe yagambye.

Abatuuze abaagala okupunta ettaka lyabwe baasabiddwa 950,000/ nga zino ziweebwayo abo abalina ettaka eritasussa yiika emu.
Omu ku batuuze Robert K. Mubiru yagambye nti musanyufu okuba nti yaweereddwa satifikeeti eno nti kubanga abantu ababdde bayitirizza okweyongeza ebibanja bya bannaabwe nga kati baakukozesanga mateeka nga bakozesa obwa nannyini bwe baafunye okubirwanirira.

    

Abali ku ttaka lya Kabaka bafunye satifikeeti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....