TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ani alya ssente za NAADS e Mubende kumpi kuzimalawo?

Ani alya ssente za NAADS e Mubende kumpi kuzimalawo?

Added 3rd August 2012

ENKOLA ya Naads mu ggobolola y’e Kasambya e Mubende etuuse okuvaako abalimi n’abakulembeze okutemagana amajambiya!

Bya DICKSON KULUMBA

Ssentebe w’abalimi, Tumusiime (ku ddyo) ng’annyonnyola ssentebe wa Disitulikiti y’e Mubende, Kibuuka Amooti emivuyo egiri mu NAADS.

ENKOLA ya Naads mu ggobolola y’e Kasambya e Mubende etuuse okuvaako abalimi n’abakulembeze okutemagana amajambiya!

Abalimi bakaayana olw’engeri NAADS gy’etambuzibwamu nga bagamba nti akwanaganya NAADS e Kasambya Aibah Muhumuza akwata bubi ensonga za NAADS.

Bagamba nti akuba nnyo enjawulo mu bintu by’agula mu NAADS ekivaako okubawa ebitali ku mutindo. Banokolayo ente n’embuzi ezigabwa, z’agula ku ssente entono kyokka ye n’alaga mu bitabo nti aziguze ku ssente nnyingi,.

Ssentebe w’ekibiina ky’abalimi mu ggombolola eno, Vincent Tumusiime yeemulugunya mu December wa 2001 nti abakulira eggombolola y’e Kasambya tebaalaga nsaasaanya ya ssente za NAADS obukadde 126 ezaabaweebwa mu mwaka 2010/2011.

Nti era  bwe gwatuuka okuyisa bajeti y’omwaka gwa 2011/2012 eyali ebaliriddwa mu bukadde 111 okuva mu Gavumenti bo baalagako obukadde 88.

Tumusiime agamba nti abakulira eggombolola baakolagana n’omumyuka we, Janet Kalulu n’assa omukono ku bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2011/2012, ekiraga nti baalina kye bakweka.

Ekibinja ky’abalimi ekirala kirumiriza omukwanaganya wa NAADS mu ggombolola, Aibah Muhumuza nti y’avuddeko ebizibu byonna e Kasambya. Bagamba nti bukya afuna mulimu guno mu 2007, agufunye ebibanja bingi mu njawulo gy’afuna mu bintu bya NAADS.

Nga July 12, eggombolola yategeka omukolo gw’okuyita mu bituukiddwaako enkola ya NAADS kyokka kata bammemba bakubagane ebikonde.

Abalimi abawagira Muhumuza baaleese ekiteeso, Tumusiime agaanibwe okukubiriza olukiiko luno kubanga yagana okussa omukono ku bajeti.

Tumusiime n’abamuwagira baakombye kw’erima kuba ye ssentebe alina okukubiriza olukiiko luno. Okuyomba okwalubaddemu kwawalirizza RDC Patrick Kibuliku okuluddukamu ng’aswadde nnyo!
 
MUHUMUZA ANNYONNYOLA
Ekizibu kya NAADS e Kasambya kiri ku ssentebe w’ekibiina ky’abalimi Vincent Tumusiime. Ayagala nnyo okulingiza mu bintu ebitamukwatako ng’ate si mukozi wa gavumenti. Tumusiime abadde n’ebiwandiiko by’ansaba omuli sitaatimenti ya bbanka, kye sisobola kukola.

Tumusiime munnabyabufuzi, akola ki ku bwassentebe bw’abalimi? Kiriko musango ki bwe mba ndudde ku mulimu, ffe abakugu tebamala gatukyusa!

Okwewala endooliito zino, sijja kuzza buggya kontulakita yange okuggyako nga ng’enda mu kitongole kirala naye ekya NAADS, nkoye okuneneng’ana na buli omu.

Bwe twagaana okuwa ebintu bya NAADS eri amakampuni Tumusiime g’alinako akakwate ebizibu byange we byava.”

Tumusiime alumiriza omukungu wa NAADS ono n’abalala mu ggombolola okukozesa ensimbi z’abalimi mu bukyamu. Kyokka mu lukiiko olwayitiddwa, waliwo ekibinja ekimu ekyabadde kizze okuggya obwesige mu Tumusiime era aba kuwa kyanya omumyuka we Janet Kalulu okulukubiriza, omupango gwabadde  guwedde!

Singa teyabadde ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende Kibuuka Amooti, okuwooyawooya enjuyi zombi osanga olukiiko terwandibaddeyo.

Kibuuka Amooti yagambye nti eggombolola eno y’emu ku zaasookamu NAADS mu Mubende era n’amagombolola agagenze gakutuka ku Kasambya okuli Kigando, Nabingola, gakola bulungi naye ekizingamizza NAADS e Kasambya kwe kuba nti teri bulambulukufu. Yabawadde omwezi gumu okwetereeza oba si ekyo waakusiba ssente za NAADS ezijja e Kasambya.

Omukungu okuva ku ggwandiikiro lya NAADS, Samalie Namutebi Kizito yawanjagidde abaneneng’ana batuule bategeeragane. “Eggwandiikiro lya NAADS lyonna liteesa ku mmwe, Kaliisoliiso wa Gavumenti amaaso agatadde ku mmwe mwaba ki abataswala?,” bwe yabuuzizza.

ABALIMI BALAZE NAADS BW’EYINZA OKUTEREEZEBWA E KASAMBYA

  • Aba NAADS mu disitulikiti y’e Mubende baddemu okusomesa abakulembeze n’abalimi enkola eno bw’erina okutambuzibwa.
  • Ebyobufuzi biggyibwe mu nzirukanya y’enkola eno
  • Abakwata ensimbi za NAADS  babe ba mazima.
  • Omukwanaganya wa NAADS akyusibwenga buli kiseera ekigere.
  • Olukiiko oluliko luddemu okulondebwa bupya.

ENKAAYANA ZIRAZE EBITULI MU NAADS YONNA
Enkola y’okufuna abantu abakwata ttenda okuleeta ebintu bangi bagikozesa okukoleramu bizinensi ezaabwe naddala abo abalina obuyinza obukikola ne bafuna amakampuni gaabwe okugabira abalimi ebintu.

Oluusi abalimi bategeeragana n’amakampuni ne babawaamu ssente entonotono mu kifo ky’ebintu.

Ennonda y’abakulembeze b’abalimi etwala ssente nnyingi, okugeza okulonda kw’abalimi okusembyeyo e Kasambya kwatwala 1,870,000/-!

Mu kusooka bannabyafuzi baali bagobeddwa mu nkola ya NAADS wabula bakkirizibwa okwetabamu, ekintu kye bakozesa okusanyusa abantu babwe ababawagira.

E Kasambya, ssentebe w’ekibiina ky’abalimi agaana atya okuteeka omukono ku kiwandiiko wabula abakulu ne bagenda mu maaso mu ngeri ey’okukukuta ne balagira omumyuka we ateekeko omukono?

Ebintu ebigabibwa tebiri ku mutindo nti abalimi n’abalunzi bawalirizibwa okukkiriza ebisolo n’ensimbi olw’okuba tebalina kyakukola?

Okugeza oli bw’abeera waakufuna ente ya 800,000/-, abazigaba bategeeragana naye ne bamuwa  500,000/- eri ne balaga nti yafuna emitwalo 80!

Kuba essimu 0752628931 bw’oba olina ebizibu by’olaba mu NAADS ewammwe.

Ani alya ssente za NAADS e Mubende kumpi kuzimalawo?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu