TOP

Ennannanansi zibbuludde ab''e Bugerere

Added 20th November 2012

Ennanaansi kibala ekyettanirwa ennyo wano mu Uganda abantu abasinga obungi naddala mu budde obw’omusana, era oli bw’agiryako ng’ebadde ennyogoga olwo obulamu budda mu nteeko.

Bya Henry Nsubuga, 

Ennanansi kibala ekyettanirwa ennyo wano mu Uganda abantu abasinga obungi naddala mu budde obw’omusana, era oli bw’agiryako ng’ebadde ennyogoga olwo obulamu budda mu nteeko.
Wadde bangi bagiwoomerwa era n’abamu bandyagadde okugyerimira basobola okugiryako buli we baba bagyetaagidde, bangi tebakisobola olw’ensonga nti si buli kitundu nti ekirime kino kiddawo okuleka ebitundu ebirimu ettaka eryasiimibwa ekibala kino.
Ku ggwe abadde asanga ennanansi mu katale nga tomanyi gye ziva, Bugerere kye kimu ku bitundu mu ggwanga awasinga okulimibwa ekirime ky’ennannansi.
Bangi ku batuuze b’e Bugerere abavuddeyo ne beenyigira mu kuzirima nga tebali mu byakugezaako bugeza na kusaaga bafuniddemu ddala nga n'abasinga kati bakamirwa bina ng’enjogera bw’egamba.
Bugerere kisangibwa mu disitulikiti y’e Kayunga ng’eno ye wali eggombolola y’e Kangulumira. Eno kumpi buli maka geenyigira mu kulima ennanansi era ng’abamu ku bbo balina bye beekoledde omuli abazimbye amayumba mwe basula n’ag’abapangisa, n'eby'obugagga ebirala ntoko ebibayambye okugaziya ennyingiza yaabwe.
Moses Lutaama (43) omutuuze ku kyalo Kisega mu ggombolola y’e Kangulumira e Kayunga y’omu ku balimi b’ennanansi abaatiikirivu mu Kangulumira.
Lutaama yatandika okulima ennanansi ku ttaka lya kitundu kya yiika oluvannyuma lwa ssente ezisoma okuggwaawo ate nga yalina okulabirira baganda be 2 abaamulekerwa oluvannyuma lwa bazadde baabwe okufa.
Agamba nti ekitundu kya yiika kino yakigula emitwalo 68 n’atandika okulima ennanaasi era sizoni eyo bwe yaggwako n’afuna ssente mwe yagula yiika endala 3.
Mu kiseera kino Lutaama aweza yiika 22 okuli ennanansi n’ebitooke by’alimira mu nnanansi.
Bazadde ba Lutaama baafa bonna ng'akyasoma P.6, bwatyo n’agenda mu maaso n’okusoma nga yeeweerera wamu n'okuweerera baganda be.
Bwe yamaliriza S.4 ne yeeyunga ku ttendekero lya Jinja Isntitute of Accountancy okusoma eby’okubala kyokka yasomako omwaka gumu n’ekitundu ssente ne zibula n’abivaako essira n’aliteeka mu kulima.
“Ettaka ly’e Kayunga liddako ennanansi wadde ng’okuzifunamu obulungi tuba tuteekamu ebijimusa,” bwatyo Lutaama bwe yategeezezza.
Lutaama annyonnyola bwati by’ayitamu okutuuka lw’akungula ennanansi:
Nnina okulaba ng’ettaka kwe ngenda okusimba ennanaasi tekuli miti gireetamu bisiikirize kuba ennanaasi tezetaaga bisiikirize. Ennanda, kalandalugo, olumbugu n’olusenke nabyo tebikwatagana na nnanaasi.
Mu yiika emu nsimbamu ebikolo by’ennanaasi 10,000-12,000 okusingira ddala ekika kya Smooth Cayenne ekidda obulungi e Kayunga. Ennanansi ziweebwa ebbanga okuva fuuti emu n’ekitundu mu buwanvu ate ffuuti 4 wakati okuva ku bikolo eby’enjawulo mu lunyiriri olumu okugenda ku lulala.
Ennanansi etwala wakati w’emyezi 15 ne 24 okukula ne ntandika okussa ate okuva awo n’emala emyaka ng’etaano.
Mu buli yiika nteekamu wakati w’obukadde 5-6 ng’oluvannyuma lw’okukungula ne nfuna obukadde wakati 4-5 okuva mu yiika emu ez’amagoba ng’amaze okujjako ebikozesebwa byonna.
Olw’okusobola okufuna obulungi mu nnanaasi, nnasalawo okugattamu n’ebitooke era bino binfunira kiralu. Mu yiika emu ey’ebitooke nsimbamu wakati w’ebitooke 150 ne 170 nga bino bimalawo obukadde 2,400,000/ omwaka.
Obukkakkana amakungula we gatuukira nsobola okufissaawo obukadde obukadde nga 8 okuva mu yiika emu ez’amagoba.”
Lutaama agamba nti mu kulima asobodde okuweereramu baganabe ne basoma ne bamala, yazimbamu ennyumba n'awasa n'omukazi nga n'abaana baabwe basoma mu masomero amalungi ag'ebisulo.
Nnina ekiruubirirwa okugula mmotoka ennyambeko okutwala ebirime byange mu katale dika kampuni ey'amayumba emmanyindwa nga housing estate mu Kayunga era ng'eno agitwandiseeko.
Obuzibu
Obuzibu abalimi b’ennanaasi e Kayunga bwe basanga mwe muli eddagala eriri ku buseere ate ng’erisinga liba lya bicupuli. Lino litta ebirime byabwe olwo ababadde baluubirira okugimusa ennanaasi ate ne zikala.
Mu nnanaasi bateekamu obukuta bw’emmwanyi okusobola okuzigimusa naye buno nabwo buli ku buseere ng’emmotoka Canter eri ku mitwalo 70.
Bano bagamba nti obukuta babuvuganyaako n’ab’amakolero ababukozesa okufumba ebintu byabwe ng’embeera eno gavum,enti yetaaga egimalewo ng’eyita mu kukendeeza ku nsimbi z’amasannyalaze olwo bbo aba’amakolero babalekere obukuta babe nga basobola okufumbisa amasannyalaze.
Okukutulakutula mu ttaka nakyo kibadde kizibu kinene nnyo gye bali ng’ettaka terikyaliyo ate ng’ennanaasi zetaaga okulimibwa ku ttaka ddene okusobola okuzifunamu.
Abavubuka abatalina mirimu bakoze kinene okubba ennanansi z’abalimi e Kayunga era bano bajula kubasuza mu nnimiro nga bakuuma.
Abalimi baluubirira kugula mmotoka basobola okwetambuliza ebirime byabwe okutuuka mu butale okwongera okufuna ssente eziwera.
Abalimi b’e Kayunga batunda ennanaasi zaabwe mu butale okuli n'obwa wano mu Uganda wamu n'ebweru w’eggwanga nga; Southern Sudan ne Kenya.

Ennannanansi zibbuludde ab''e Bugerere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....