TOP

Amateeka 9 agakuuma emmwaanyi n'ozifunamu

Added 11th December 2012

ERI abalimi bangi, emmwaanyi tezikyafuna!Wabula kino si kituufu, okyasobola okufuna ssente mu mmwaanyi singa totunda z’okazizza wabula n’zongerako omutindo.

Bya HERBERT MUSOKE


ERI abalimi bangi, emmwaanyi tezikyafuna! Bagamba nti okuva akawuka akazikaza lwe kajja nti tekikyagasa kuzirina kuba ozissaamu kinene naye n’ofuna kitono.

Bbeeyi y'emmwaanyi ennaku zino ekyukakyuka, nga kino akulira ekibiina kya National Union of Agri-business and Coffee Farm Enterprise, (NUCAFE), Joseph Nkandu akissa ku mutindo gwazo mu balimi obuteesigika.

“Emmwaanyi obutafaanana na birime birala, bbeeyi yaazo tesinziira nnyo ku bwetaavu buliwo wabula ku mutindo gw'ezo ezitwalibwa mu katale. Asinga emmwaanyi z’omutindo y'afuna bbeeyi ennungi”, Mw. Nkandu bw'agamba. Omutindo gw'emmwaanyi gutandikira mu musiri okutuuka mu kyuma gye zikubirwa.

OKULABIRIRA OMUSIRI:
Mw. Henry Lwanga akulira ebyobulimi mu ggombolola y'e Kasawo agamba nti bw’oba onoofuna mu mmwaanyi ennaku zino omusiri olina okugulabirira, tozireka kwekuza ng’abasinga bwe bakola.


Emmwaanyi nazo zeetaaga amazzi, naye ate omusiri togussa mu lutobazzi. “N’olwekyo tema ensalosalo mu musiri, naddala nga kati enkuba bw’etonnya, okukwata amazzi n'obugimu bw'ettaka obutaliggwaamu.
Bwe kuba kwa kyeya, omusiri gufuuyire lw’ojja okufunamu,” bw’agamba.


Osobola okubikka omusiri emmwaanyi ng'okozesa obukuta oba ebisubi naddala mu kiseera ky'ekyeya kubanga akasana bwe kabeera akangi emmwaanyi tezizitowa, ofuna kirerya.


Yongera okugimusa ettaka kyokka osaanira okukozesa nnakavundira kubanga ekisinga okwettaniza emwanyi za Uganda butakozesa bigimusa bizungu.


Fuba okutta ebiswa byonna ebimera mu musiri gwo kubanga bino bivaamu enkuyege ezirya buli kisubi ekigwa.


Omulimi w’emmwaanyi beera n’akuuma akapima amazzi. Ebifaanayi byonna bya Herbert Musoke

OKUKUNGULA:
Mw. Edward Ssendyose Kiwanuka, nnannyini kyuma kwa EKISENU Coffee Factory e Kasawo agamba nti mu kiseera ky'okukungula omutindo gufa nnyo.


1. “Noga emmwaanyi ezengedde zokka kubanga eza kiragala zikola emiramwa emiddugavu. Zino zigula ssente ntono, ate bw'obeera otundira ku kyuma bassa bbeeyi yaazo.

2. Singa obeera onoga, emmwaanyi n'ekuba ekimuli, lindako wakati wa wiiki emu n'ebbiri ne kimala okukwata kubanga ezo z'ogenda okunoga sizoni eddako.

3. Weewale emmwaanyi okukukula kubanga abakugu bagamba nti obukuku buvaako okulwala ‘kookolo’ era ezo zigula ssente ntono.

4. Wabula olw'okuba emmwaanyi zisinga zinogebwa ku nkuba, osaanye okubeera ne sitoowa ennene ate nga wagizimba yeewunziseemu. Singa enkuba ebeera ekulemesezza okwanika emwanyi, sena amazzi oziyiwemu nga bw'ozikyusa okuziggyamu ebbugumu n'obutakukula.

5. Emmwaanyi tozaanika ku ttaka, zaanike ku kiwempe, ettundubaali, akatandaalo oba mu luggya olulimu sseminti.

6. Emmwaanyi zaanike wakati w'emisana 7 ne 9 okusinziira ku bungi bw'omusana obubeerayo.

7. Nga zikaze, zipakire mu nsawo era ogitunge olwo ogitereke ku mbaawo enkalu oba bbulooka naye tozeesigamya ku kisenge. Kijja kuyamba emmwaanyi okusigala nga nkalu kubanga zisika nnyo amazzi okuva wansi oba mu bisenge.

8. Mu sitoowa mw'otereka emmwaanyi tolundiramu oba okusuzaamu ebisolo wadde enkoko, kubanga olwo oba otta omutindo bwe ziyingiramu kalimbwe, ebyoya oba obusa.

9. Weerale okuyiwa amafuta mu mmwaanyi n'okutereka taaba mu sitoowa kubanga emmwaanyi zijja kusika olusu ziggweemu akawoowo, olwo ggwe ofiirwa.

TWALA EMMWAANYI  KU KYUMA:
Mw. Sendyose agamba nti abalimi bangi tebakimanyi nti okukuba kase mu mmwaanyi zo we wali ssente.Kkiro ya kibooko kati egula wakati wa 2,000/- ne 2,200/- okusinziira ku kitundu kyokka Kase ali wakati 4,200 ne 4,300/- kkiro.


Ensawo ya kibooko eya kkiro 100, singa otunda kkiro ku 2,000/- ogifunamu 200,000/-. Singa okubisaamu kase, buli kkiro ekubirwa wakati 70/- ne 80/- okusinziira ku kyuma, olwo n'oggyamu wakati wa kkiro 57 ne 60 ate Kolono ofuna wakati wa kkiro 60 ne 62 okusinziira ku mbeera y'obudde n'ettaka.


Singa obeera kase omutunze 4,200/- buli kkiro, ofuna 239,400/. Bw’oggyako 7,000/- ez'ekyuma ne 2,000/- ez'entambula osigaza 230,400/- n'obeera ng'ofunye 30,400/- ezeeyongeramu.

Kino kitegeeza nti singa obeera n'ensawo nga 10, ofuna 304,000/- okusinga atunze Kibooko.


Bw’oba olina ntono oba nga tosobola kuzitwala ku kyuma, waakiri mwegatte ku kyalo mupangise emmotoka naye buli lw’otunda Kibooko ggwe ofiirwa.

LWAKI ABALIMI BATYA OKUTWALA EMMWAANYI KU KYUMA?
Mw. Ssendyose agamba nti abalimi abasinga babadde tebamanyi nti omulimi naye asobola okutwala emmwaanyi n'azikubisa kase!
Abalala balimbibwalimbibwa nti ku byuma by'emmwaanyi babbirayo abantu nga bababala ekifuulannenge.

LWAKI OMUTINDO GUGWA?
Mw. Ssendyose agamba nti ensonga esinga eva ku kuba nti abalimi abasinga beesigama ku butonde, ate nga embeera ekyukakyuka kale akasana bwe kaaka enyo emmwaanyi ezitafunye mazzi tezikola miramwa mirungi.


Akawuka k’emmwaanyi kavuddeko omutindo okugwa, ezimu zengera ng’endala zikyali nto. Emmwaanyi zinogebwa nnyo mu kiseera ky'enkuba ne zivunda olw’amazzi amangi.

Weereza ebirowoozo byo ku kutumbula omutindo gw’emmwaanyi ku 0782006608

Amateeka 9 agakuuma emmwaanyi n’ozifunamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...