TOP

'Obutiko busansula waakiri 500,000 mu wiiki'

Added 31st December 2012

BW’OBA osula mu muzigo oba ng’oli wafunda w’otosobola kulimira nnyo, ssente zinoge mu butiko.

Bya DICKSON KULUMBA


Muky. Kayongo ng’alaga bw’alima obutiko.

BW’OBA osula mu muzigo oba ng’oli wafunda w’otosobola kulimira nnyo, ssente zinoge mu butiko.
Annet Kayongo, omutuuze e Nakulabye zooni IV mu munisipaali y’e Lubaga y’omu ku bantu ababeera mu kibuga, abakozesa ekifo ekitono okulimiramu. Muky. Kayongo awaka we yasalako akafo ka ffuuti 5X28 kw’alimira obutiko.

“Mu 2010 nannyuka omulimu mu kkampuni yLubagaa Kampala Tobacco Store gye nakolera okumala ebbanga. Neebuuza kye nnyinza okukolera awaka kubanga nail nkooye okukozesebwa.

Ekirowoozo kyaggukira ku kulima butiko bwe nali ndabye bannange balima. Namanya nti bujja kusobola okulabirira amaka gange engeri baze Edward Kayongo gye yafa.

Natandika okwetaba mumisomo egy’enjawulo e Kasubi, aba Caritas e Nsambya nabo bansomesaako. Natandika n’ekisawo ky’ebifi kka ku ppamba kimu kye nagula ku 10,000/- ne nziggyamu ennimiro 28. Nagulayo ensigo za
30,000/-. Mu kiseera kino nnina ennimiro 60.

ENTEEKATEEKA Y’ENNIMIRO
Bippamba by’ofumba, bwe biwola obiteeka mu buveera. Wabula kirungi n’obiteeka mu kaveera nga bw’osimba ensigo. Bw’omaliriza okusimba ennimiro, ogikubako obutuli, awo n’ogitwala mu kifo eky’ekizikiza okumala wiiki bbiri. Mu bbanga lino ensigo zitandika okuvaayo obulungi, olina okusala ebintu ebyeru, obutiko busobole okufuluma.

Olwo oggya ennimiro zino mu kifo eky’ekizikiza n’oziteeka we zinaakulira obulungi. Otandika okuzifukirira n’amazzi.
Nga bino byonna bimaze okukolebwa, oluvannyuma lw’omwezi gumu, otandika okukungula kyokka osigala ofukirira okusobozesa ensigo endala okumera. Bippamba bino tebifumbwa byokka wabula oteekamu seminti owa layimu, bulandi wa kasooli oba omuceere.

AKATALE
Obutiko bukola ssente ez’amangu singa obutunda nga bubisi. Kkiro yaabwo egula wakati wa 5000/- ne 6,000/- ate akasowaani kali ku 1,000/-.

Abaguzi ssekinnoomu mbaguza okutandikira ku 1,000/-. Buli wiiki ntunda kkiro eziri wakati wa 25 ne 30. Nnina supamaketi ze nguza obutiko bwange okuli Mega Standards ku ppaaka enkadde, City Joy e Mengo, Mengo Shoppers, Good Luck zonna z’e Mengo ne Pocket Friendly ku Balintuma Rd e Mengo.

EBIRUNGI BY'AKATIKO
Obutiko buvaamu ssupu, bukolebwamu omubisi, obuwunga obuteekwa ku caayi n’ebintu ebirala n’olwekyo bw’obeera obulimye, tosobola kubulwa katale.

Akatiko ddagala, kayamba ku balwadde ba ssukaali, puleesa, aba mukenenya amaanyi mu mubiri n’endwadde endala.

Obutiko obuwedde okupakinga.

Ebifaananyi byonna bya Dickson Kulumba.

Awaka tewabeera maluma wamu n’okunyiriza omubiri. Olw’okuba nti obutiko ekiseera kyonna bubeera bukuwa ssente,
ssaagala bunveeko kubanga mbumanyidde, era buli muntu ammanyi nti mu kitundu kino nze mbulima.

Omukugu mu by’obutiko, AlexMusoke agamba nti okulima obutiko gwe mulimu gw’osobola okutandika n’ensimbi entono ddala 50,000/- oba 100,000/- ne wayita ebbanga ttono n’ofunamu bukadde.

“ Buli wamu akatiko kali ku katale munda mu ggwanga n’ebweru waalyo. Tewali balimi basobola kumatiza katale n’olwekyo bw’okayingiramu n’omutima guno, osobola okuyoola ensimbi,” Musoke bw’agamba.

Musoke ayongerako nti omuntu asobola okufuna akafo akafunda ddala mu muzigo akali mmita 1x1 oba ebigere bisatu ku bisatu n’assaamu ennimiro z’obutiko entono 20. Muno asobola okuggyamu kkiro bbiri n’ekitundu buli lunaku n’afuna waakiri 15,000/-.

MUKY KAYONGO BY’ASUUBIRA OKUKOLA:

“Njagala okugaziya nnime ennimiro eziwera nga 1,000 omulundi gumu kubanga nafuna okusoomoozebwa kwe siryerabira.

Nafuna ddiiru okuwa aba Shoprite obutiko obuweza kkiro 100 buli wiiki. Nagatta obwange ne nkung’anyaanga okuva mu balimi abalala naye twalemererwa, ddiiru ne baginziggyako lwa butamatiza katale kaabwe.

Njagala okufuna akuuma k’amasannyalaze kannyambe okukola emisubbaawa kubanga kano ke nkozesa katwala ebbanga ddene okufulumya emisubbaawa.

 

‘Obutiko busansula waakiri 500,000 mu wiiki’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...